Ebyava mu bigezo bya S6 bifuluma Lwakutaano luno
Mar 12, 2025
Omugatte gwa bayizi 142,009 be beewandiisa okutuula ebigezo bino ebya Uganda Advanced Certificate of Education (UACE) nga kuliko abawala 61,968 n'abalenzi 80,041 nga baabituulira mu bifo 2,634.

NewVision Reporter
@NewVision
Omugatte gwa bayizi 142,009 be beewandiisa okutuula ebigezo bino ebya Uganda Advanced Certificate of Education (UACE) nga kuliko abawala 61,968 n'abalenzi 80,041 nga baabituulira mu bifo 2,634.
Ensonda mu UNEB zaategeezezza Bukedde nti okugolola ebigezo bino kwawedde bulungi era abakungu ba UNEB nga bakulemberwa ssentebe w'olukiiko olukulu olufuga ekitongole, Polof. Celestino Obua ne Ssaabawandiisi Dan N.Odongo bajja kubiteekamu engatto bagende eri Minisita w'ebyenjigiriza n'ebyemizannyo Janet K.Museveni okumuyitiramu ebintu nga bwe byatambudde.
Oluvannyuma lw'okuyitiramu mukyala Museveni, UNEB ejja kulung'amya ku kufulumya ebigezo kuno bwe kunaakolebwa naye nga bwe waba tewali kikyuse, bya kufulumizibwa ku Lwokutaano ku ssaawa 5:00 ez'oku makya mu maka g'Obwapulezidenti e Nakasero.
UNEB yalaga nti abayizi 142, 009 abeewandiisa okutuula ebya S6 omwaka oguwedde beeyongerako ebitundu 22.1 ku buli 100 bw'ogeraageranya n'abo 10,569 abeewandiisa okutuula ebya 2023.
Abayizi abaatuula nga bali ku Gavumenti bali 35,661 (bye bitundu 25.1 ku 100) nga baweererwa wansi w'enkola ya Universal Post Level Education and Training (UPOLET) Program, ate ababadde basomera ku bwannannyini bali 106,348.
No Comment