Olukiiko lw’abamanyi lwongedde Mubajje
Mar 14, 2025
OLUKIIKO lw’abamanyi olwa MalisUlama lwongedde mufti Sheikh Ramanthan Mubajje n'omumyuka we Sheikh Ali Waiswa ekisanja kya myaka etaano.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision
OLUKIIKO lw’abamanyi olwa MalisUlama lwongedde mufti Sheikh Ramanthan Mubajje n'omumyuka we Sheikh Ali Waiswa ekisanja kya myaka etaano.
Eggulo, olukiiko olwetabiddwaamu bammemba b’olukiiko olufuzi, General Assembly, badisitulikiti kaadi, bannamateek ba UMSC n’abalala baakakasizza Mubajje
ne Waiswa okumala emyaka 5 emirala egyatandise eggulo.
Bammemba ku ssaawa 6:00 mu ttuntu baabadde batuuse ku kitebe e Kampalamukadde.
Ssaabawandiisi wa UMSC, Hajji Abas Ssekyanzi Muluubya, yayanirizza abakiise n’akwasa dayirekita wa Sharia era ssentebe wa Malis Ulama, Dr. Ziyad Swaleh Lubanga enkasi okukuliramu ebiddako Dr. Lubega yazzeemu okwanjula ebyasalwo era ssentebe wa UMSC n'amulagira okugenda okunona ‘abagole’ b’olunaku era ne banona Mubajje ne Waiswa wakati mu mizira ne takibiira ez’amaanyi.
Waabaddewo okusoma edduwa eggulawo era ssentebe Muhammad Kisambira mu butongole n’akasa Mubajje ku Bwamufti ne Waiswa ku bumyuka asooka.
Yannyonnyodde nti ku Lwokusatu, Mubajje yaweza emyaka 70 egy’obukulu ssemateeka
omukadde gwe yali awa omuntu ali mu kifo ky’obwamufti okukomako.
Naye mu ssemateeka omupya, yakyusa n’adda ku myaka 75, mufti gy'alina okukomako ne bakyusa ekisanja okuba nga tekikoma ku myaka 10.
Yannyonnyodde nti nga 12/02/2025, yawandiikira ssaabawandiisi wa UMSC, n’amusaba ategeeze olukiiko lw’abamanyi balonde mufti omupya.
Olukiiko lw'abamanyi lwalaga nti Mubajje ne Waiswa balina ebisaanyizo okubeera mu ofiisi eyo emyaka emirala 5.
Yagambye olukiiko lwa Joint Session ne Malis Al Ulama beebuuza ku bammemba a General Assembly n’abalala be kikwatako ne bakakasa nga tewali tteeka lye bamenya bwe batyo ne balonda Mubajje.
Ku ky’Abasiraamu abaagenze mu kkooti nga bawakanya ekya Mubajje okumwongera ekisanja, yagambye tajja kukyogerako kuba ensonga ziri mu kkooti. Wabula eby’okuyisa ekiragiro ekikugira okulayiza Mubajje, yagambye nti yabadde tannafunako kiwandiiko kyonna ku nsonga eno okuva eri kkooti.
Yasabidde abaawereddwa obuyinza Katonda abawe okutegeera n’obuvumu mu bukulembeze obupya. Mubajje yategeezezza nti buli muntu amanyi UMSC gye yali, bweri era waliwo bye basobodde okutuukako ne bye bakyatunuulidde okukola. Yagambye nti ye nga omuntu abadde tasabangako kisanja n’olukiiko gye lwatuulira teyaliiyo era talina wadde okusaba kwe yassaamu.
Yagambye nti olw’okuba olukiiko lw’abamaanyi lwasiimye ne lumulonda, alina kukkiriza era ne yeeyama okukola wabula yagambye nti ekisanja kino kya kukola nteekateeka Sheikh Waiswa z’okujjulula obukulembeze
No Comment