Ebyava mu bibuuzo bya S6 bifuluma leero

Mar 14, 2025

LEERO ku Lwokutaano, minisita w'Ebyenjigiriza n'emizannyo, Janet Museveni lw'agenda okufulumya ebyava mu bigezo bya S6 eby’omwaka oguwedde (2024).

NewVision Reporter
@NewVision

LEERO ku Lwokutaano, minisita w'Ebyenjigiriza n'emizannyo, Janet Museveni lw'agenda okufulumya ebyava mu bigezo bya S6 eby’omwaka oguwedde (2024).
Abayizi 142,009 be beewandiisa okutuula ebigezo bino ebya Uganda Advanced Certificate of Education (UACE) nga kuliko abawala 61,968 n’abalenzi 80,041
nga baabituulira mu bifo 2,634.
Ku Lwokusatu, UNEB yategeezezza Bukedde nti abakungu nga akulemberwa ssentebe w’olukiiko olufuga ekitongole Polof. Celestino Obua ne ssaabawandiisi Daniel
Odongo baayitiddemu Muky.
Museveni ebintu nga bwe byatambudde ne kisalwawo nti ebigezo bifulumizibwe leero mu maka g'Obwapulezidenti e Nakasero. UNEB yalaga nti abayizi 142,017
abeewandiisa okutuula ebya S6 omwaka oguwedde beeyongerako ebitundu 28.4 ku buli 100 bw’ogeraageranya n’abo 110,579 abeewandiisa okutuula ebya 2023. Abayizi abaatuula nga bali ku Gavumenti bali 35,661 (bye bitundu 25.1 ku 100) nga baweererwa
wansi w’enkola ya Universal Post Level Education and Training UPOLET), ate ababadde basomera ku bwannannyini bali 106,348. Abawala abaabituula bali 61,968 (43.6%) ate abalenzi bali 80,041 (56.4%). Bino bye bigezo ebisembye  okufulumizibwa oluvannyuma
lw'okufulumizibwa kw'ebya P7 ebya Primary Leaving Examination (PLE) mu January wa 2025 n'ebya S4 ebiyitibwa Uganda Certificate of Education (UCE) ebyafuluma omwezi oguwedde

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});