Omuwala abadde asiika Chappati ne Muwogo okweweerera afunye 16 mu bya S6

Mar 16, 2025

Shadia Nankumba eyafunye 16 ku Kyagambiddwa SS e Lwabenge mu Kalungu yagambye nti tekyali kyangu okugabanya obudde bw'okusoma n'okusiika muwogo ne chapati mw’abadde afuna ffiizi n'ebyetaago ebirala.

NewVision Reporter
@NewVision

Shadia Nankumba eyafunye 16 ku Kyagambiddwa SS e Lwabenge mu Kalungu yagambye nti tekyali kyangu okugabanya obudde bw'okusoma n'okusiika muwogo ne chapati mw’abadde afuna ffiizi n'ebyetaago ebirala.

Nankumba (wakati) Ng'abasomesa Be Bamusanyukirako.

Nankumba (wakati) Ng'abasomesa Be Bamusanyukirako.

"Kubadde kwewaayo nnyo, kwesiga Katonda na kuwuliriza abasomesa bange ebinnyambye okuyita ne nsemberera okutuukiriza ekirooto kyange eky'okufuuka omusomesa omutendeke nange nteeke ettoffaali mu kubangula abaana b'eggwanga".

Bye bimu ku bigambo bya Nankumba nga yakafuna amawulire g'okuyita. Ono yasangiddwa n'abasomesa be JJ.Ssembajjwe ne Hawa Kannyana nga bamusanyukirako.

Abalala abaakoze obulungi ku ssomero lino kuliko Steven Lukoda eyafunye 17,Mastulah Namuganga 14 n'abalala.

Related Articles

No Comment

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});