Omuwendo gw'abakwatibwa siriimu e Masaka gweraliikirizza ab'ebyobulamu
Mar 20, 2025
Abakulira ebyobulamu mu kibuga Masaka beeraliikirivu olw’omuwendo gw’abafumbo ogweyongera okwenyigira mu kwetunda n’okugula bamalaaya
By Richard Kyanjo
Journalist @New Vision
ABAKULIRA ebyobulamu mu kibuga Masaka beeraliikirivu olw’omuwendo gw’abafumbo ogweyongera okwenyigira mu kwetunda n’okugula bamalaaya, ekyongedde emisinde akawuka ka siriimu gye kasaasaanirako mu kibuga
kino.
Okusinziira ku Dr. Joseph Nsubuga akulira okulondoola ensaasaana y’akawuka ka Siriimu mu kibuga Masaka, obwenzi byeyongedde nnyo mu myaka esatu egiyise nga n’ekisinga obubi, bisinze kwenyigirwamu bafumbo; abaami n’abakyala.
Ekibuga Masaka Bwe Kifaanana.
Dr. Nsubuga yategeezezza nti abeebyobulamu bamaze emyaka ebiri (2022-2024) nga banoonyereza ne yunivaasite y’e Makerere ssaako ebitongole ebirala ku nneeyisa y’abantu mu kibuga kino ne bakizuula nti abakyala abafumbo abeetunda beyongera buli kaseera ng’ate n abasajja abagula bamalaaya bano abasinga bafumbo.
Dr. Nsubuga agamba nti obwenzi businga kukolebwa mu bifo ebisanyukirwamu ne loogi z’omu Nyendo, ku Ssaza ne Kijjabwemi kuba abantu bangi mu bitundu ebyo.
Ono yannyonnyodde nti obwenzi buno businze kuva ku kulinnya mu byenfuna by’abantu olw’ebbeeyi y’emmwaanyi okulinnya, okweyongera kw’ebifo omusanyukirwa, abaami obutaleka bikozesebwa bimala waka abakyala ne babinoonya mu ngeri gye basobola ate n’abakyala obutamatiza baami baabwe mu kisenge.
Yategeezezza nti ekisinga okweraliikiriza, abantu abasoba mu 400 be baakolako okunoonyereza era abakkiriza nti beenyigira mu bikolwa bino, bwe baabakebera, baakizuula nti balina akawuka.
Dr. Nsubuga agamba nti kino kitiisa kuba obuyambi obulabirira abalina akawuka bukendeera buli olukya.
Steven Asiimwe ow’ekitongole ekirondoola ensaasaana y’obulwadde bwa mukenenya (Uganda AIDS Comission), yategeezezza nti Masaka ekwata kifo kyakusatu mu bitundu ebizuulibwamu abantu abalina akawuka ka siriimu emabega wa Fort Portal ne Mbarara.
Asiimwe yategeezezza nti wadde buli ekyetaagisa kikoleddwa okukendeeza ensaasaana y’akawuka, si bwe kiri e Masaka ng’okusingira ddala kivudde ku muze gw’abantu obuteekuumira ku baagalwa baabwe.
Town Clerk w’ekibuga Masaka, Daniel Kaweesa yategeezezza nti mu myaka ebiri egiddako, baakwongera amaanyi mu kusaasaanya amawulire agakwata ku nsaasaana y’akawuka n’okukubiriza abantu okwekuuma.
No Comment