Maama Nnaabagereka agguddewo ekizimbe abaana abaliko obulemu mwebagenda okusomera Computer
Mar 24, 2025
NNAABAGEREKA Sylivia Nagginda agguddewo ekizimbe omugenda okusomerwa ebya Kompyuta ne Tekinologiya ku ssomero ly'abaana abalina obulemu bw'okuwulira erya Masaka School for the Deaf.

NewVision Reporter
@NewVision
NNAABAGEREKA Sylivia Nagginda agguddewo ekizimbe omugenda okusomerwa ebya Kompyuta ne Tekinologiya ku ssomero ly'abaana abalina obulemu bw'okuwulira erya Masaka School for the Deaf.
Kino kibadde kimu ku bikoleddwa okujaguza emyaka 20 bukya ssomero lino erisangibwa mu kibuga Masaka litandikibwawo.
"Nneebaza Omukungu Francis Kamulegeya olw'okutandikawo essomero lino ate n'okulaba ng'abaana bano bayigirizibwa Tekinologiya, bakule nga bajjudde obuntubulamu,"Nnaabagereka bwagambye.
Nnaabagereka Nagginda ng'alambula ebikolebwa abayizi abaliko obulemu ku Masaka School for the Deaf mu kibuga Masaka e Buddu nga March 22,2025
Nnaabagereka, awerekeddwako Abakungu mu kitongole kye ki Nnaabagereka Nagginda Women's Fund n'alambuzibwa ebintu eby'enjawulo ebikolebwa abaana bano era nga bimusanyudde.
Abato bano bawadde Nnaabagereka akabonero akaggyayo obukulu bwe nga Maama wa Buganda era obwedda bamuyigiriza enkola y'akabonero kano naye nga bwagoberera ekintu ekisanyudde ennyo Abakungu abeetabye ku mukolo guno.
Pookino Jude Muleke nga ye mwami atwala essaza ly'e Buddu y'atuusizza obubaka bwa Minisita w'ebyenjigiriza mu Buganda era avunanyizibwa ku ofiisi ya Nnaabagereka Coltlida Nakate Kikomeko akubirizza abazadde okufuba okutwala mu massomero abaana bonna awatali kwawulamu kubanga Kabaka ayagala abaana bonna bafune okusoma okuli ku mutindo era okusoboka, lwebajja okwetaba mu nkulakulana ya Buganda ne Uganda eyawamu.
Ku lulwe, Muleke abuulidde abeetabye ku mukolo guno nti yeewayo okubeera Omulwanirizi era Omwogezi w'abaana bano abaliko obulemu kubanga naye aliko obulemu obubwe, tayagala muntu atategeera!
Nnaabagereka n'abaana abaliko obulemu
" Nneebaza Kereziya nti abaana bano balina ennaku mwebategekerwa Mmisa wano e Masaka ng'etambulira mu lulimi lwa bubonero. Nsaba n'enzikkiriza endala zitandiike enteekateeka eno," Muleke bwategezezza.
Ekifo kino kyatandiikibwa Omukungu wa Kabaka, Francis Kamulegeya nga y'akulira Olukiiko olufuga Buganda Land Board.
Essomero lyagulawo mu 2005 ng'abaana abakunnukkirizza mu 1000 be bayise mu ssomero lino nga mu kiseera kino lirina abayizi 131.
Kamulegeya yeebazizza ebitongole eby'enjawulo ebizze bibakwatizaako okuli ekya Minisitule y'ebyenjigiriza ekikola ku baliko obulemu, ICEA insurance, MTN era n'akunga ebirala saako n'abantu ssekinoomu okuvaayo okubakwatizaako mu buwereeza buno.
Abaasomerako ku ssomero lino babaddewo mu bungi. Mu kiseera kino bantu ba buvunanyizibwa mu bitongole eby'enjawulo.
Moses Kwizera yayogedde ku lwa banne era yeebazizza Nnaabagereka olw'okuyitibwa ku mukolo guno n'akkiriza ekintu ekibalagidde ddala nti abaagala ng'abaana ba Buganda. Asabye nti Minisitule y'ekikula ky'abantu mu Buganda esaanye okwongera okubasakira emikisa kubanga wadde Bali mu mbeera eno, naye basobolera ddala okukola emirimu kuba ye Kati asobola okuvuga Emmotoka ate akola ne URA ku nsalo ne Rwanda.
Okulabirira abaana bano si kyangu kubanga olusoma olumu, okulya kubatwalira obukadde bw'ensimbi za Uganda, Kkumi ng'ate gavumenti eyawakati ku zino ebakwatizaako akakadde kamu n'ensimbi eziggwaamu.
Maama Nagginda ng'asala cake n'abaana
Wano omukulu w'essomero lino, Sarah Nakabuye Kigongo w'asinzidde nneeyebaza Omukungu Kamulegeya olw'okunoonyanga Ssente ezibalabirira wamu ne Mikwano gye egimukwatirako.
" Mu kusooka abantu baaletanga abaana mu kutya, nga tebabawa na bikozesebwa naye twagenda tubasomesa, bwetukola enkiiko nga tuleeta n'abamu ku bayizi abaliko obulemu saako naabo abaasomerako wano nebamanya nti n'abaabwe basobola okubeera nga bano, bwebatyo nebakyusa endowooza ku baana baabwe," Nakabuye bwagambye.
Nakabuye agambye wano abaana babasomesa eby'omukibiina ate n'ebyemikono era bangi bagenda okumalako P7 nga tebanoonya na mirimu.
Mu bigezo ebyakadda, Nakabuye ategezezza nga bwebatuuza abayizi 8 ng'abasinga okukola obulungi bafuna obubonero 19 ate eyakola obubi yayitira mu ddaala lya kusatu n'obubonero 25 ekintu kyagambye nti wadde bano Bakiggala naye basobolera ddala okukola ebyo ebikolebwa abaana abataliiko bulemu.
No Comment