Obwakabaka bwa Buganda butangaazizza ku ky'okuggya Buganda ku Map ya Uganda

Mar 24, 2025

OBWAKABAKA bwa Buganda buvuddeyo ne butangaaza ku nsonga y'okuggya Buganda ku map ya Uganda ne bategeeza nti guno si gwemulundi ogusoose wabula ekitongole kya UBOS kya kikolako dda ne kifulumya Map nga Buganda teriiko.

NewVision Reporter
@NewVision

OBWAKABAKA bwa Buganda buvuddeyo ne butangaaza ku nsonga y'okuggya Buganda ku map ya Uganda ne bategeeza nti guno si gwemulundi ogusoose wabula ekitongole kya UBOS kya kikolako dda ne kifulumya Map nga Buganda teriiko.
Mu kissera ekyo, Ssaabasajja Kabaka, Ronald Muwenda Mutebi II, yavaayo mu Ddoboozi lye ku mukolo gw'Amazaalibwa 63 agwali e Villa Maria mu 2018 naavumirira nnyo ekikolwa kino. (Mukatambi ketujja okubalaga).
Katikkiro wa Buganda, Ow'ekitiibwa Charles Pater Mayiga mu biseera ebyo, yavaayo okutaangaaza ku nsobi eyali ekoleddwa ekitongole kya UBOS, nga ategeeza Obuganda.
Twabadde tuli awo, nga Map ya Uganda, elabikira ku bibanja ebimu ku Mitimbagano, nga Buganda teriimu. Naye ng'ebifo ebirala byona kwebiri n'amawanga .
Wano wenviirayo okubategeeza ng'Omwogezi w'Obwakabaka, bwa Buganda, nti byonna ebyakoleddwa, kutuggya ku mulamwa, n'enteekateeka zetulina ezizza Buganda ku Ntiko.
Njagala okubategeeza n'okubagumya nti teri muntu yenna asobola okusangula Buganda ku Map ya Uganda. Wadde okusaanyaawo ebyafaayo mu kuteekawo Uganda eyaawamu.
Nyongera okubategeeza nti Buganda Lwazi era abazze baagala okugisaanyaawo bafunye obuzibu obutayogerekeka.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});