OMUVUBUKA gwe baawa akakalu ka kkooti n’abula, bakutte omu ku bamweyimirira n’amulonkoma n’addamu okukwatibwa kati atemeza mabega wa mitayimbwa e Luzira.
Jackson Tumukunde ye yali yaweebwa akakalu ka kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo ku by’okubulankanya ssente za kkampuni esunda amata ga Sibyangu e Kyankwazi kyokka oluvannyuma n’abula.
Mu bulijuzi obwamuweereddwako omubalirizi w’ebitabo mu kitongole kino, Benjamin Ogema, yategeezezza omulamuzi Adams Byarugaba nti, Tumukunde yali yaweebwa obuvunaanyizibwa bw’okukungaanya amata mu balunzi e Kyankwazi nga bw’agaweereza e Kampala wabula yafuuka nnamunswa alya ku nswa ze n’atandika okwetoolerako nga bakama be tebamanyi.
Kyazuulibwa nti n’amafuta ge baamuwanga okusaabaza amata nago yeggyirangako agage nga bwe yakwatibwa yali yaakabba agabalirirwamu akakadde kamu n’emitwalo abali.
Yasabye kkooti okumuyimbula ku kakalu kaayo kyokka omulamuzi n’amujjukiza nti olwakamuwa okusooka ate yafuuka musu gw’e Kanyanya nga n’okuddamu okumufuna baasooka kukwata omu ku baamweyimirira era okusaba kwe n’akusuula mu kasero.
Yaddiziddwa e Luzira ng’akukkuluma olw’abaali bakama be okumusibisa nga guddamu April 2, 2025 okwongera okumuwaako obujulizi.