Kadaga atabuse n'Obwakyabazinga n'ayasa ebyama ; "Obwakyabazinga buli mu buwambe"
Apr 01, 2025
Kadaga era nga ye mubaka omukazi owa disitulikiti y’e Kamuli eyabadde omukaawu ng’omususa yasinzidde ku leediyo ya KBS esangibwa mu kibuga ky’e Kamuli mu pulogulaamu eyakubiriziddwa Aloysius Nyenje n’agamba nti Obwakyabazinga buli mu buwambe.
By Tom Gwebayanga
Journalist @New Vision
OMUMYUMA asooka owa Katikkiro wa Uganda, Rebecca Kadaga atabuse n’Obwakyabazinga n’ayasa ebyama.
Kadaga era nga ye mubaka omukazi owa disitulikiti y’e Kamuli eyabadde omukaawu ng’omususa yasinzidde ku leediyo ya KBS esangibwa mu kibuga ky’e Kamuli mu pulogulaamu eyakubiriziddwa Aloysius Nyenje n’agamba nti Obwakyabazinga buli mu buwambe.
Kagona gw'alumiriza okutumibwa okumwesimbako.
Kadaga yalumbye Katuukiro wa Busoga, Dr. Joseph Muvawala Nsekere okuba ow’enkwe n’atuuka okumuyungulira minisita w’abavubuka ow’Obyakyabazinga Veronica Vennah Kagona amwesimbeko.
Yagambye nti ddiiru eno erimu abanene mu Bwakyabazinga kuba ssinga si bwe guli bandimuwabudde n’atamwesimbako.
Yabikudde n’ekyama nti olwa vulugu afumbekedde e Bugembe, Obwakyabazinga buli mu katyabaga, nga kye kivuddeko Kyabazinga okuva mu ggwanga nga gigenda kuwera myezi ebiri.
Yalaze nti Obwakyabazinga kyenkana tebukyalina makulu kuba mu kifo eky’okugatta abantu ate bw’awudde baawule.
Kadaga era yalabudde Kagona akomye okukozesa erinnya n’ekifaananyi kye ku bipande bye, okuwudiisa abantu nti yamuwanzeeko eddusu.
Kadaga aliko abakulembeze bazze alumiriza e Busoga okumulwanyisa okuli; Henry Maurice Kibalya (Bugabula South), Brandon Kintu (Kagoma North), Panadol Mugema (Iganga Municipality) n’abalala.
Kadaga Ng'ayogera N'omwana
Kagona bwe yatuukiriddwa Bukedde yawakanyizza eby’okusindikibwa Obwakyabazinga n’agamba nti ye muntu mukulu eyeesalirawo ku kyakola.
“Eky’okwesimbawo tekigudde bugwi kuba ekirowoozo maze nakyo ebbanga. Mu kiseera kino Maama Kadaga akooye yeetaaga kuwummuza tumulage nti n’abaana bakuze be yayigiriza okufumba kye kiseera atukwase enkasi” bwe yagambye.
Yeewuunyizza Kadaga lwaki okujja kwe kwamulumye kyokka nga waliwo abalala abeesimbyewo nga ng’olwokaano lulimu abalala; RDC we Budaka, Deborah Mwesigwa Mugerwa, Noet Nangobi, Bridget Babirye (NUP), Proscovia Musumba n’abalala.
Sipiika w’olukiiko lwa Busoga, George William Mutyabule yagambye nti Obwakyabazinga tebunnavaayo na kiwandiiko kitongole ku nsonga eno era amanyi kijja kukolebwa.
No Comment