"Bwe wabaawo ekibaluma mu ntambuza y'emirimu e Mmengo mututuukirire okusinga okudda ku mitimbagano ne muwalabula obwakabaka"

Apr 03, 2025

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga awadde obukulembeze bw’ekibiina kya National Unity Platform amagezi nti bwe beesanga nga balina ekibaluma mu ntambuza y’emirimu e Mmengo bamutuukirire

NewVision Reporter
@NewVision

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga awadde obukulembeze bw’ekibiina kya National Unity Platform amagezi nti bwe beesanga nga balina ekibaluma mu ntambuza y’emirimu e Mmengo bamutuukirire mu kifo ky’abavubuka okudda ku mutimbagano ate ne bawalabula Obwakabaka ku mutimbagano.

Mayiga agamba nti ye waali okwogerezeganya nabo ku nsonga yonna nga kibeera kirungi bamutuukirire ate oluvannyuma bagende bamanyise abavubuka abo ababeera ku mutimbagano ekituufu ekiriwo.

Katikkiro Wa Buganda Charles Peter Mayiga (ow'okubiri Okuva Ku Ddyo) Ng'akutte Omujoozi Mu Kifaananyi Kyabaddemu Ne Bannakibiina Kya Nup Abazze E Bulange Mmengo.

Katikkiro Wa Buganda Charles Peter Mayiga (ow'okubiri Okuva Ku Ddyo) Ng'akutte Omujoozi Mu Kifaananyi Kyabaddemu Ne Bannakibiina Kya Nup Abazze E Bulange Mmengo.

Okwogera bino, abadde asisinkanye Bannakibiina kya NUP abazze e Bulange-Mmengo okugula emijoozi gy’emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka egiweredde ddala gya bukadde 15 era n’okumwanjulira omubaka omuggya ow’e Kawempe North, Munnamateeka Elias Luyimbaazi Nalukoola.

“Bwe mulaba ensonga etabajjira bulungi nga mulowooza nti nsobola okubeerako kye nkola, ne tunnyonnyolagana, mujje. Mwe abakulembeze bwe mulaba ekitajja bulungi, munnoonye,” Mayiga bwe yasabye.

Katikkiro Mayiga eyabadde ne baminisita okuli Israel Kazibwe ow’amawulire, Noah Kiyimba owa Kabineeti n’olukiiko agambye nti wadde Kabaka ataddemu amaanyi mangi naye obulwadde bwa siriimu bweyongedde nga kyetaaga okukolera awamu okubulwanyisa.

Mayiga Ng'ayogera.

Mayiga Ng'ayogera.

Aba NUP baakulembeddwamu akulira oludda oluwabula Gavumenti mu Palamenti, Joel Ssenyonyi ng’ono yeebazizza nnyo Kabaka olw’okutumbula eby’obulamu mu Bannayuganda n’agamba nti nabo bafubye okulaba nga bateeka gavumenti ku nninga okuteeka amaanyi mu by’obulamu okuli okumaliriza eddwaliro ly’e Lubowa.

Mayiga akulisizza Omubaka Nalukoola olw’okuwangula kyokka n’amuwa amagezi okutambulira mu ngatto kubanga ayinza obutasobola kukola ebyo ebyakolebwa Muhammad Ssegirinya.

Omumyuka wa Pulezidenti wa NUP, atwala Buganda, Muwanga Kivumbi ategeezezza ng’emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka bwe buli obuyiiya obw’ekika eky’awaggulu kubanga mu kiseera kino gye gisinga mu Afriika yonna era nti gisaanye okukozesebwa okutumbula obulambuzi.

Emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka gigenda kubeerawo nga April 6, 2025 mu Lubiri e Mmengo.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});