Bukedde gwe yawandiikako ng'afulumira mu kyenda afunye abazirakisa ne bamulongoosa
Apr 07, 2025
OMWANA eyali afulumira mu kyenda wabweru w'olubuto bamulongoosezza abazadde ne basiima Bukedde olw'omuwandiikako abazirakisa ne bamudduukirira

NewVision Reporter
@NewVision
OMWANA eyali afulumira mu kyenda wabweru w'olubuto bamulongoosezza abazadde ne basiima Bukedde olw'omuwandiikako abazirakisa ne bamudduukirira
Ruth Namudayi 7, muwala wa Kaana Namalero 42 ne Toofa Mulembe ab'e Buwesa mu ggombolola y’e Busabi mu muluka gw’e Malagha mu disitulikiti y’e Butalejja.
Ruth Namudayi Bw'afaanana Kati
Omwaka oguwedde baddukira mu bukedde n’awandiika ku muwala waabwe eyali afulumira mu kyenda ab'eddwaliro lya Children Surgical Hospital erisangibwa e Ntebe olwalaba amawulire ne basalawo okulongoosa Namudayi.
Namalero maama wa Namudayi yagambye nti yeesiba ekyenda nga wa wiiki emu bwe yamutwala ku ddwaaliro e Mbale abasawo ne bakifulumya wabweru gy'abadde yeeyambibwa ne bamusaba obukadde 4 n’emitwalo 50 okumulongoosa ze yali talina.
Bbaluwa Kwe Baamulongooseza Era Ne Bamusiibula121
Moses Lyada omulwanirizi w'eddembe ly'obuntu e Butalejja yamukwasaganya ne Bukedde n’amuyamba nga kati omwana we ali mbeera nnungi.
Lyada yasiimye Bukedde olw'okulumirirwa omuntu wa wansi kuba Namulero ne bba tebaalina ssente ng'era omwana waabwe teyandifunye mukisa kulongoosebwa naye eddwaaliro amawulire lya963+452galabira ku Bukedde.
Kaana Namalero Ne Moses Lyada Nga Balaga Ruth Namudayi We Baamulongoosezza
No Comment