Ebya bbebi eyawanuse ku kkalina n’afa biranze! Bitiisa!
Apr 08, 2025
Ebyavudde mu DNA nga April, 4, 2025, bikakasa nti - Nganwa Rugari, eyafudde yabadde azaalibwa Chris Rugari, wadde ng’abaana abalala akasengejja kaabawandula, okuggyako eyasooka yekka.

NewVision Reporter
@NewVision
Ebipya bizuuse ku bbebi w’omubaka wa Uganda e Zimbabwe agambibwa okuba nga yawanuse ku kalina n'afa.
Kitaawe w’omwana era nga mubaka wa Uganda e Zimbabwe, Chris Rugari kigambibwa nti bbebi we yafiiridde yabadde yaakamukebeza endaga butonde (DNA) okukakasa oba nga wuwe.
Bbebi Nganwa Eyafudde
Ebyavudde mu DNA nga April, 4, 2025, bikakasa nti - Nganwa Rugari, eyafudde yabadde azaalibwa Chris Rugari, wadde ng’abaana abalala akasengejja kaabawandula, okuggyako eyasooka yekka.
Kigambibwa nti Rugari, ku baana baabwe abataano, Rugari, yasooka n’akebezaako abaana abasooka basatu, kyokka ebyava mu DNA byagenda okukomawo, ng’omwana asooka yekka ye w’omusajja, ng’abasigadde akasengejja kabawandudde.
Bino olwagwa mu matu ga maama w’abaana bano, Joiline Mutesi Dusabe, n’akwata abaana ababiri, n’abaako ekifo gy’abakweka. Wano Rugari, naye yasalawo n’aggyawo omwana we asooka DNA gwe yakakasaako yekka, n’abaako gy’amutwala.
Bannaddiini Nga Basabira Omugenzi.
Gye buvuddeko, yasalawo n’akebeza bbebi waabwe asembayo, era ebyavudde mu DNA ne bikakasa nti y’amuzaala, era kirowoozebwa nti omusajja yabadde alina pulaani ey'okumuggyawo nga bwe yakola ku mukulu.
Kino kyongedde okuzuzumbya poliisi emitwe, nga balowooza nti okugugulana okubaddewo wakati w’abaagalana bano, kwandiba nga kwekuusa ku kufa kw’omwana waabwe.
Amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire, yategeezezza Bukedde, nti nnyina w’omwana baamukwata oluvannyuma ne bamuta ku kakalu ka poliisi y’oku Jinja Road, kyokka ku Lwomukaaga, bazzeemu ne
bamukwata oluvannyuma lwa lipoota y’abasawo okukontana ne bya maama bye yatadde mu siteetimenti.
Lipoota eraga nti omulambo gwa bbebi tegwabaddeko kiraga kyonna nti yagudde, ate era n’eraga nti omwana teyabadde na kintu kyonna mu lubuto, ekyalaze nti yabadde muyala ebitagambika.
Dusabe Nnyina W'omugenzi.
Okunoonyereza okukoleddwa poliisi kulaga nti bbebi we yafiiridde nga waliwo okusika omuguwa wakati w’abazadde be bombi, ku ani alina okuba naye.
Poliisi yakwasizza abaffamire omulambo gwa bbebi, n’atwalibwa ku kyalo Ryakarimira, mu disitulikiti y'e Kabale gye yaziikiddwa wakati mu miranga.
Bakira abaziisi beekuba obwama wakati mu kwewuunaganya nga beebuuza engeri omwana gy’ayinza okuwanuka ku kalina eyookubiri n'agwa wansi awali peeva kyokka n’atabaako nkwagulo yonna wadde okumenyeka eggumba oba okweyonoonera mu ngoye.
N’ebinyolo maama w’agamba nti omwana we yayise okuyita mu ddirisa, poliisi yasanze ebinyolo nga bisibe nga nakyo kyongedde ebibuuzo mu baffamire, nga beebuuza bbebi we yayise okugwa wansi nga nnyina bw’agamba.
Rugari, Taata W'omwana.
Kigambibwa nti Rugari, yaddukira mu kkooti ng’ayagala emukkirize ayawukane ne mukazi we gw’agamba nti abadde asussizza okubaliga n’atuuka n’okuzaala abaana abatali babe.
Yabadde ayagala kkooti era emuwe obuyinza mu butongole, okubeera n’abaana be, be yabadde amaze okukakasa nti y’abazaala.
Poliisi era yakakasizza okukwatibwa kw’omukozi w’awaka naye abayambeko mu kunoonyereza kwe baliko.
Bino byagenze okubaawo nga Rugari, yasenguka mu maka ge agasangibwa e Mutungo Zone 8, n'agalekamu mukazi we
n'abaana bana.
No Comment