Omulamuzi alambudde ettaka erikaayanirwa abatuuze n’ekitongole ky’ebibira

Apr 09, 2025

Omulamuzi wa kkooti e Buvuma, Johnson Talemwa atuuzizza kkooti ku ttaka ab’ekitongole ky’ebibira (National Forest Authority, NFA) kwe baagala okusengula abantu abasoba mu 6,000.

NewVision Reporter
@NewVision

Omulamuzi wa kkooti e Buvuma, Johnson Talemwa atuuzizza kkooti ku ttaka ab’ekitongole ky’ebibira (National Forest Authority, NFA) kwe baagala okusengula abantu abasoba mu 6,000.

Ettaka lya kibira kya Bukayibaale Forest Reserve ng'ab’ekitongole ky'ebibira baagala okusengulako abantu ku byalo 9 okuli; Nkoka, Bukayo, Bunigira, Mpumudda, Galigatya, Wabivu, Kirayita, Nkere ne Lukoma.

Galiwango Avunaanibwa N'abatuuze.

Galiwango Avunaanibwa N'abatuuze.

Omulamuzi w’eddaala erisooka, Talemwa yabadde n’amyuka RDC w’e Buvuma, Patrick Mubiru n’abakozi ba kkooti nga baalambuddeko ebyalo bibiri; Nkoka ne Galigatya ku mwenda bye baagala okusengula, oluvannyuma n'atuuza kkooti ku ttaka eryo.

Aba NFA baakulembeddwa atwala NFA e Buvuma, Wilfred Tumwesigye, munnamateeka waabwe, Sam Blick Okello n’omusaveya Elizabeth Nalwadda era baawadde obujulizi ate omu ku bagambibwa okwesenza ku ttaka era ng'aba NFA gwe
baawawaabira, Geoffrey Galiwango yabadde n’abatuuze ssaakoabakulembeze b’ekyalo abaamuwe ekeddeko.

Omulamuzi yatadde aba NFA ku nninga okumulaga ekibira kye bavunaana Galiwango okwesenzaako n’okutemamu emiti. Bo kwe kumutegeeza nti kino tekikyali kibira wabula ttaka lya kibira kuba abantu baalyesenzaako ebbanga ddene, ekibira ne bakisaanyaawo.

 

Bakira omulamuzi abakomako obutalandagga mu bye bamuddamu ng’agamba nti ye ogwamututte kulaba ttaka n’embeera mwe liri sso si kuwuliriza bigambo bingi ng’era ogwamututte yabadde agukoze bulungi.

Abatuuze baliko ne maapu gye baabadde balaga omulamuzi nga bagamba nti teraga Bukayibaale Forest Reserve, aba NFA gye bagamba wadde ng’omulamuzi yabagambye nti tekyalina ky’eyinza kukyusa kuba tebaagiteeka mu bujulizi bwe baawaayo mu kwewozaako kwa Galiwango.

Omulamuzi yawadde omumyuka wa RDC (Mubiru) omukisa okubaako ky’ayogera ng’ono yategeezezza nti kituufu ettaka eryali ery’ekibira litwaliramu ebyalo mwenda era abantu baalyesenzaako lyonna.

Mubiru olunwe yalusonze mu ba NFA n’agamba nti bo bennyini be baatundanga ettaka lino nga baliguza abatuuze ate ne bamala ne babeefuulira.

Yabawadde amagezi okulaba bwe bakolaganamu n’abatuuze bave mu by’okubasindikira abaserikale okubakolako effujjo nga babakuba n’okwonoona emmere yaabwe wabula babasomese butya bwe bayinza okukozesa obulungi ettaka oba kisoboka basimbeko emiti ng’amateeka bwe galagira ng’eno nabo bwe balimirako emmere.

Omulamuzi yawadde ku Lwokuna nti lw’ajja okuwa ensala ye ey’omusango guno oluvannyuma lw’okwetegereza n’okuwuliriza enjuyi zonna.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});