Kabaka agabidde amasaza tulakita ezirima
Apr 13, 2025
KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abalimi okukyuka n’ensi nga bw'etambula bade ku kukozesa tekinologiya mu bulimi bwe bakola, nti lwe bagenda okwongera okubufunamu.

NewVision Reporter
@NewVision
KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abalimi okukyuka n’ensi nga bw'etambula bade ku kukozesa tekinologiya mu bulimi bwe bakola, nti lwe bagenda okwongera okubufunamu.
Mayiga yagambye nti ekiseera ky’okukozesa enkumbi mu bulimi kyaggwaako ng’ekiseera ky’okukozesa tulakita okutumbula obulimi okusinga ku mbeera mwe bali.
Okwogera bino yasinzidde Bulange-Mmengo ku mukolo gw’okukwasa abaami b’amasaza Tulakita nga guno gubadde gumu kw'ejo egy’ebijaguzo by’amazaalibwa ga Kabaka Mutebi II ag’emyaka 70.
Katikkiro ayongedde n’atuusa obubaka bwa Kabaka eri abaami okukuuma obutiribiri ttulakita zino ezaabaweereddwa, zireme kwonooneka kubanga kino kyakuswaza Obwakabaka n’okuzingamya kaweefube w’okutumbula eby’ebulimi.
Ate ye Minisita w’ebyobulimi,obwegassi,obulunzi n’obusuubuzi, Hajj Amiisi Kakomo agambye nti pulojekiti ya Tulakita eno bwetereddwako emitendera mweneyita okutambuzibwa okuli obukiiko obugenda okulaba emitendera gy’okuzifunamu bweeri era n’alabula nti tebaagala ntalo mu nteekateeka eno.
Tulakita ezaagabiddwa.
Omulangira Ronald Mulondo nga ye Mwami atwala essaza ly’e Bulemeezi era Omukubiriza w’olukiiko lw’abaami b’amasaza mu Buganda yeebazizza Kabaka olw’okubawa tulakita zino z'ayogeddeko ng’ezigenda okukyusa embeera z’abantu era ku lwa banne n’amawagaliza amazaalibwa ag’essanyu.
Edward Ssenkindu mmemba ku lukiiko olufuga ekitongole ky’Obwakabaka ekitumbula obulimi ki Bucadef era nga y’akikkiridde Ssentebe waalwo Dr. Ben Ssekamatte ategeezezza nga bwe baataddewo makanika omukugu agenda okuba ng’ayamba ku masaza okuzirabirira bw'atyo n’asaba abalimi okujjumbira okulimisa ebyuma bino.
Tulakita zino zaaguliddwa okuva mu Akamba (U)Ltd. Amasaza ataano okuli Mawokota, Buweekula,K ooki,Bugerere ne Mawogola ge gaafunye tulakita.
No Comment