Russia ekasuse epikompola mu Ukrain ne bitta abantu 34 abalala 117 ne balumizibwa

Apr 14, 2025

AMAWANGA agawagira Ukraine bavumiridde eryanyi Russia lye yakozesezza bwe yakasuse ebikompola ebikambwe n’etta abantu 34 n’okulumya abalala 117.  

NewVision Reporter
@NewVision

Bya Willy Semmanda

AMAWANGA agawagira Ukraine bavumiridde eryanyi Russia lye yakozesezza bwe yakasuse ebikompola ebikambwe n’etta abantu 34 n’okulumya abalala 117.

Ku makya ga Ssande, Russia yakasuse ebikopola bi gaboggola eby’ekika kya ballistic missile ne bikuba ekibuga ekikulu Kiev n’okukoseza ddala yunivasite enkulu ey’omu kibuga ekyo era gye byaggweeredde nga bangi baluguzeemu obulamu mu kiseera we kibadde kirowoozebwa nti oboolyawo enteeseganya eziriwo zinaasiriikiriza mu lutalo.

Ebintu ebyayonooneddwa ebikompola

Ebintu ebyayonooneddwa ebikompola

Pulezidenti wa America, Donald Trump ng’avumirira obulumbaganyi buno agambye nti kino kitalo kinene ekibadde tekikyasuubirwa Russia kukolebwa ate owa German alinze okulya entebe Friedrich Merz kino ekiyise jjano erijjudde okutirimbula abantu okutakkirizibwa na mu ntalo.

Abakulembeze b’ensi abalala okuli owa Bufalansa, Emmanuel Macron, Katikkiro wa Bungereza Sir Keir Starmer n’abalala bavumiridde obulumbaganyi buno ne bagamba nti Pulezidenti wa Russia Vladimir Putin asaanye yeddeko.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});