Omuvubuka agambibwa okufumita munne ekiso n'amutta poliisi emuyigga
Apr 14, 2025
Poliisi e Katwe eri mu kuyigga omuvubuka ateegerekese nga Mark, agambibwa okufumita munne ekiso n'amutta.

NewVision Reporter
@NewVision
Poliisi e Katwe eri mu kuyigga omuvubuka ateegerekese nga Mark, agambibwa okufumita munne ekiso n'amutta.
Bino, bibadde mu zzooni ya Nsiike 1 mu Ndeeba mu munisipaali y'e Rubaga mu Kampala, Mark bw’asse munne atannamanyika bimukwatako.
Kigambibwa nti ababiri bano be bamu ku babbi abaludde nga batigomya ekitundu ekyo era nga kisuubirwa nti ettemu lino, lyandiba nga lyavudde ku ngabana embi.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Patrick Onyango agambye nti omulambo, gutwaliddwa mu ggwanika ly'eddwaliro ekkulu e Mulago okwekebejjebwa ng'okunoonyereza bwe kukolebwa.
Agasseeko nti mu mmita nga 100 okuva awabadde ettemu, basanzeewo akambe akasuubirwa okuba ng'omutemu ke yakozesezza okufumita munne.
No Comment