Mmotoka eremeredde omugoba waayo n'etomera ow'emyaka 14 n'afiirawo
Apr 15, 2025
Akabenje kabadde ku kyalo Ngogolo mu ggombolola y'e Butuntumula e Luwero, mmotoka nnamba UBH 003Z gy'egambibwa okukoona Eunice Nakitto n'afa nga yaakatuusibwa mu ddwaaliro e Luwero.

NewVision Reporter
@NewVision
Omwana omuwala ow'emyaka 14, akooneddwa mmotoka e Luwero n'afa.
Akabenje kabadde ku kyalo Ngogolo mu ggombolola y'e Butuntumula e Luwero, mmotoka nnamba UBH 003Z gy'egambibwa okukoona Eunice Nakitto n'afa nga yaakatuusibwa mu ddwaaliro e Luwero.
Omwogezi wa poliisi mu Savana Sam Twineamazima, agambye nti ddereeva w'emmotoka asobodde okwemulula n'adduka era bamuyigga.
Agasseeko nti ebadde Eva Ggulu okudda e Kampala n'emulemerera olw'emisinde n'etomera Nakitto.
Related Articles
No Comment