Ebigezo bya Bukedde ebimalako ttaamu bitandise na bbugumu
Apr 15, 2025
EBIGEZO bya Bukedde ebya End of Term one Assessment eby’abayizi ba P7 byettaniddwa; abazadde, amasomero n’abaagala okutumbula ebyenjigiriza ne basabibwa okubigulira abayizi bamanye bwe bayimiridde.

NewVision Reporter
@NewVision
EBIGEZO bya Bukedde ebya End of Term one Assessment eby’abayizi ba P7 byettaniddwa; abazadde, amasomero n’abaagala okutumbula ebyenjigiriza ne basabibwa okubigulira abayizi bamanye bwe bayimiridde.
Akulira okusaasaanya amawulire g’empapula mu Vision Group, Bruce Byaruhanga yagambye nti ebigezo bino ebigenda okumala wiiki ssatu, Bukedde abireese okugezesa abayizi b’azze asomesa okuva mu luwummula lwa ttaamu eyookusatu ku nkomerero y’omwaka oguwedde.
Ebigezo bino byatandise ggulo ku Mmande n’ekigezo kya Mathematics, leero kya Social Studies, Olwokusatu Integrated Science ate ku Lwokuna ekya English.
Byaruhanga yagambye nti wiiki ejja okuva ku Mmande nga April 21, 2025 ebyokuddamu bifulume ku nnaku ebibuuzo kwe binaaba bifulumidde ate nga mulimu n’ebibuuzo ebinaayanukulwa mu wiiki eyookusatu.
Yasabye abazadde, amasomero, abakulembeze, bannakyewa, abayizi abaasomerako mu masomero ag’enjawulo n’abantu abaagala ebyenjigiriza okugulira abayizi ebigezo bino mu bungi kibayambe okusitula obusobozi bwabwe mu kuyita ebya P7 ebibalindiridde ku nkomerero y’omwaka guno.
Abaagala ebigezo bino mu bun-gi yabasabye okuyita mu batunda amawulire ga Bukedde ne New Vision oba okukuba butereevu ku kitebe kya Vision Group mu Kam-pala, gajja kubatuusibwako omuli n’ago ge banaaba basubiddwa.
No Comment