Obukadde 100 buyuzizza mu Palamenti
Apr 16, 2025
EBYA ssente obukadde 100 ezigambibwa okuweebwa ababaka ba Palamenti bifuuse nnamulanda nga mabeere ga mbwa, abooludda luvuganya bwe bafulumizza olukalalalw’ababaka 72 abaatadde omukono ku kiwandiiko nga beegaana okuzifuna.

NewVision Reporter
@NewVision
EBYA ssente obukadde 100 ezigambibwa okuweebwa ababaka ba Palamenti bifuuse nnamulanda nga mabeere ga mbwa, abooludda luvuganya bwe bafulumizza olukalala
lw’ababaka 72 abaatadde omukono ku kiwandiiko nga beegaana okuzifuna.
Akulira oludda oluvuganya, Joel Ssenyonyi yasinzidde mu lukiiko lwa bannamawulire lwe yatuuzizza eggulo ku Palamenti n’agamba nti wadde ng’ababaka b’oludda oluvuganya basukka 100, abaatadde mukono ku kiwandiiko, bali 72 bokka.
“Bannaffe abamu abataataddeko mikono, oboolyawo agamba tetujja kwetantala kuba
nnyinza okuzivumirira ate olunaku ne lukya obujulizi ne buvaayo nga azifuna,” Ssenyonyi bwe yagambye.
Yasoomoozezza abaagaba ssente baveeyo baanike omubaka yenna gwe banaalaba nga yatadde ssente ku kiwandiiko nga yeegaana nti teyazifuna kyokka nga bo bamanyi nti baazimuwa.
Kyokka ssente zino abakulira Palamenti baazeegaana ne bagamba nti ababyogera, basaasaanya bulimba, kuba ssente zonna eziweebwa ababaka ziyita mu ofi isi y’omuwandiisi omukulu owa Palamenti era ziteekebwa ku akawunti z’ababaka mu bbanka.
Naye Ssenyonyi yasigadde alumiriza nti ssente ezaaweebwa ababaka zaayisibwa Palamenti mu nsawo etetunulwamu (classifi ed funds) n’asaba Gavumenti ewe embalirira ku nkozesa ya ssente z’ekika kino ezizze ziyisibwa.
“Mu myaka etaano egiyise, Palamenti eyisizza trillion 16 n’obutundu 8 ate mu mwaka
gumu eyisizza trillions 3. Kye twebuuza zikola mulimu ki nga bwe wabaawo obwetaavu nga okutwala amagye e Congo ne South Su an ate bakomawo ne basaba ssente ez’enjawulo?” Ssenyonyi bwe yabuuzizza.
Ensawo ya ‘classifi ed fund’, Pulezidenti Museveni yazoogeddeko mu kiwandiiko kye yafulumizza wiiki ewedde n’agamba nti zeeyambisibwa okutebenkeza eggwanga era y’emu ku nsonga lwaki Uganda erimu emirembe.
Museveni era yasoomoozezza omubaka Muwanga Kivumbi (Butambala) n’abalala abooludda oluvuganya nti lwaki tebavaayo ne boogera ku ssente eziva mu mawanga g’ebweru eziweebwa bannabyabufuzi ba kuno ’ekiruubirirwa by’okutuukiriza ebigendererwa by’abagwira.
Ssenyonyi yasabye Pulezidenti aleete obujulizi bw’abazze bafuna ssente mu bukyamu
okuva mu mawanga g’ebweru ensi ebamanye. Yagambye nti tebayinza kutwala ssente ng’abantu abamu bwe bazze basaba ababaka kuba ssente za kibi kuba basasulwa
omusaala n’ensako okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe.
SSENTE EZIZZE ZIGULUMBYA PALAMENTI
Ku Mmande ekiro nga April 7, 2025, n’enkeera ku Lwokubiri kigambibwa nti ababaka ba NRM n’abamu ab’oludda oluvuganya baaweebwa obukadde
100 buli omu nga za kubeebaza okuyisa etteeka ly’emmwaanyi
n’okubasikiriza okuwagira enongoosereza mu tteeka lya UPDF.
Mu December wa 2023, kigambibwa nti buli mubaka yaweebwa obukadde 100 okuyisa ennongoosereza ya ssente eziwera trillion 5.2. Kyokka Sipiika Anita Among yabiwakanya nti bya bulimba.
June 2022, amawulire gaavaayo ng’ababaka bwe baali baweereddwa obukadde 40 buli omu okuyisa ennyongereza ya bajeti ya buwumbi 77 ez’amaka g’Obwapulezidenti. Omubaka Twaha Kagabo (Bukoto South) asitula ekisawo kya ssente n’azizzaayo, kyokka gye byagweera nga yeetondedde Sipiika ne Palamenti yonna.Kyazuuka nga May 6, 2022, olukiiko olufuzi olwa Palamenti olwa Parliamentary Commission lwayisa
akasiimo ka kawumbi kamu n’obukadde 200 ezaagabanyizibwa abatuula
ku kakiiko ako. Mathias Mpuuga eyali akulira ludda oluvuganya yafunako
500.
Bakaminsona abalala abasatu okuli; Solomon Silwany (Bukooli Central), Prossy Mbabazi (Mukazi/ Ibanda) ne Esther Afoyochan (Mukazi/Zombo) buli
omu yafunako obukadde 400. Kino kyaleka bangi boogera ebisongovu.
Mu 2005, omubaka Theodore Ssekikubo yavaayo n’alumiriza ng’ababaka bwe baali baweereddwa obukadde butaano buli omu, basobole okuwagira ekiteeso ky’okuggya ekkomo ku bisanja bya Pulezidenti.
Mu 2011, waliwo ababaka abaavaayo ne bazzaayo obukadde 29 ezaali ziteereddwa ku akawunti zaabwe nga za kweyambisibwa okulondoola enkola ya Bonna
Bagaggawale.
Waliwo obukadde 29 ezigambibwa okuweebwa ababaka nga bayisa ekiteeso ky’okukyusa ennyingo 102 (B) eyaggyawo ekkomo ku myaka 75 egy’omukulembeze w’eggwanga kw’alina okukoma.
ABAKULEMBEZE KYE BAGAMBA
Nnampala wa Gavumenti, Hamson Obua yagambye nti ebyogerwa b’oludda oluvuganya, bya kucamuukiriza era nga beetegese okubatwala mu kkooti babiweeko obujulizi. Ssaabawandiisi wa NUP, Lewis Rubongoya yagambye nti bwe banaazuula nga mu baafuna ssente mulimu mmemba waabwe, tebajja kumuttira mu liiso wabula bajja
kumubonereza mu ngeri esoboka.
Pulezidenti wa FDC, Patrick Amuriat yagambye nti okulowooza ku ky’okubonerez mmemba waabwe yenna bajja kusooka kufuna bujulizi obw’enkukunala naye tebajja
kukolera ku ng’ambo. Ssaabawandiisi wa UPC, Fred Ebil yavumiridde ebikolwa
by’okugulirira ababaka ba Palamenti n’agamba nti bagenda kussaawo akakiiko kanoonyereze ku babaka baabwe
No Comment