Polof. Badru Kateregga owa Kampala University atutte abaana 3 okuli n’abalongo ku DNA akakase oba ddala babe

Apr 17, 2025

WAABADDEWO akanyoolagano e Wandegeya nga Polof. Badru Kateregga owa Kampala University atutte abaana 3 okuli n’abalongo okubakebera endagabutonde (DNA) akakase oba ddala babe.

NewVision Reporter
@NewVision

WAABADDEWO akanyoolagano e Wandegeya nga Polof. Badru Kateregga owa Kampala University atutte abaana 3 okuli n’abalongo okubakebera endagabutonde (DNA) akakase oba ddala babe.

Bino okubaawo byaddiridde kkooti okukkiriza okusaba kwa Polof. Kateregga okutwala abaana ba Nnaalongo we okubakebera DNA okukakasa oba nga babe sikulwa ng'ayola ng'aang'a.

Ebyokwerinda byanywezeddwa mu kifo kya Gavumenti ekya Analytical Laboratory we bakeberera, ng’abaana bano okuli abalongo ab’emyaka 11 n’omulala ow’emyaka 4 aba Nnaalongo Jolly Shubaiha Irankunda 35, batwaliddwaayo.

Polof Kateregga Ne Nnaalongo Nga Bakyali Mu Mukwano.

Polof Kateregga Ne Nnaalongo Nga Bakyali Mu Mukwano.

Kateregga 78, yatuuse bamukwatiridde olw’embeera y’obulwadde gy’alimu. Waabaddewo n’abaana be abakulu abaamuwerekeddeko okukakasa nga buli kimu kitambula bulungi.

Kyokka abakulira ekifo baalabise ng’embeera baagyetegekedde kuba ekifo kyabaddeko obukuumi obutali bwa bulijjo.

Abaana ba Polof. olwalabye ku Nnaalongo eyabadde ne looya we ne batandika okumuweerekereza ebigambo n’okumulangira omululu gw’ebintu ogwali gumutuusizza okwagala okuggyawo kitaabwe.

Wadde nga waabaddewo okuwaanyisiganya ebigambo, abeebyokwerinda tebaabaganyizza kuliraanagana. 

Okugenda ku DNA, baagendedde ku kiragiro ky’omulamuzi Charles Opio Kangira owa kkooti ento ekola ku nsonga za ffamire n’abaana e Makindye, eyalagidde abaana bakeberebwe bakakase kitaabwe. Abafumbo bano baafuna obutakkaanya era mu kiseera kino tebakyabeera wamu.

Wadde nga Polof. Kateregga ye yasooka okuloopa omusango gw’okumutulugunya. 

Omusango guno oguli ku fayiro ya Family Court No. 316 of 2024 ne Miscellaneous Application No.0012 of 2025, Polof Badru Ddungu Kateregga ye yaloopa Nnaalongo olw’okumutulugunya n’atuuka n’okumugoba mu maka ge yeezimbira e Buziga.

Mu kiseera kye kimu, Nnaalong we yateerawo okusaba mu kkooti ng’ayagala bayise ekiragiro ekikaka Polof. okumuwa ssente z’okulabirira abaana. Kyokka Kateregga n’akalambira nti alina kusooka kukebeza baana kuba ababuusabuusa.

Nnaalongo yasooka kukiwakanya ng’agamba nti ebya DNA byali bigendererwamu kutwala budde, n’ekigendererwa ky’okulwisaawo okumuwa obuyambi. Kateregga yasaba kkooti abaana bakebererwe mu mawanga g’ebweru olw’obwerufu. 

Ne Nnaalongo yategeeza nga bw'atakirinaakobuzibu n’asaba bakeberebwe mu America kuba abaana balina obutuuze bwayo.

Kyokka omulamuzi mu nsala ye yagambye nti wadde ng’assa ekitiibwa mu biteeso by'abafumbo byombi, abaana bakeberebwe mu kifo kya Gavumenti e Wandegeya.

Yawabudde abafumbo nga bwe bali ab’eddembe okuddamu okubakebera mu nsi endala gye banaaba baagadde bwe wanaabaawo abuusabuusa ebivuddemu. Nnaalongo yaweereddwa amagezi nti wa ddembe okuyita aba United States Department okubaawo nga bakebera, sso si okukebera bennyini.

Omulamuzi Opio yalagidde Kateregga okutandika okuweereza 3,000,000/- ewa Nnaalongo buli mwezi okulabirira abaana nga bwe balinda ebinaava mu DNA. Mu mbeera y’emu era Kateregga alina okusigala ng’asasula fiizi n’ebyetaago by’essomero ebirala.

Olw’okuba abaana basoma bava waka, Polof ateekeddwa okubasasulira entambula y’essomero. Kateregga ne Nnaalongo baawoowebwa nga March 3, 2013 era balina ezzadde ly’abaana basatu. Kateregga yasooka kuvaayo n’alumiriza Nnaalongo okumukuba olubale ku mutwe olwabulako akatono okumutta. 

Agamba nti teyakoma awo, yamugoba ne mu nnyumba e Buziga.

KATEREGGA ALABUDDE ABASAJJA
Polof. Kateregga omutandisi wa Kampala University alabudde abasajja okwegendereza abakazi baleme kukolera bintu mu ngeri y’okucamuukirira.

Yasinzidde mu lukung’aana lwa bannamawulire lwe yatuuzizza ku Kampala University kwe yayanjulidde enteekateeka z’okutikkira abayizi okw’omulundi ogwa 22  leero ku Lwokuna.

“Abasajja mbalabula okwegendereza kuba abakazi batulimba n’omuwa ne by’otandimuwadde. Munnange gwe nasooka okulinnyisa ennyonyi mmweewuunya okugamba nti emmaali twagikola ffembi.

Yantutte mu kkooti mbu sirabirira baana, kyokka mbakakasa nayo nja kumuwangulirayo,” Kateregga bwe yagambye. 

Yagambye nti okumanya omukazi tasaaga, yamugoba mu nju gye yeezimbira olw’okuba yakkiriza n’amussa ku kyapa ky’amaka ago.

Mu kiseera kino abasawo baamutaddeko obukwakkulizo bw’obutaddamu kutambula nga talina basawo bamuliko olw’obuvune bwe yafuna.

“Kyokka munnange mmulabula nti okuliraana omugagga, tekikufuula mugagga. Ndi musajja wa bitiibwa 50 be ddu era nneewuunya abanzirako ne bansojja ne mbasaba basooke beewe ekitiibwa,” bwe yalabudde.

Nnaalongo Irankunda agamba Polof. amuwaayiriza ku by’okumutulugunya era ayagala kumwonoonera linnya.

Agamba nti ebadde nkola ya Kateregga okuva emabega nga buli lw'aganza omukazi omupya nga gw'abadde naye amuyisa nga ekyonziira.

Olw'okuba baafunamu obutakkaanya naye ayagala kumuyisa nga bw'azze ayisa abalala ye aviiremu awo, ekintu ky'agamba nti si mwetegefu kukikkiriza.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});