Poliisi erabudde abategesi b'ebivvulu abalanga abayimbi ne batajja

Apr 18, 2025

Poliisi  eyongedde okulabula abayimbi n'abategesi b'ebivvulu okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe mu biseera bino eby'ennaku enkulu.

NewVision Reporter
@NewVision

Poliisi  eyongedde okulabula abayimbi n'abategesi b'ebivvulu okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe mu biseera bino eby'ennaku enkulu.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, ategeezezza nti bazze bafuna emisango, abategesi b'ebivvulu mwe batimbira abayimbi nti kyokka ne batalabikako oluusi ne kireetera abawagizi okukola effujjo n'okwonoona ebintu.

Ategeezezza nti abo bonna abatimba omuyimbi n'atalabikako, baakuvunaanibwa era bakangavvulwe.

Alabudde abadigize abagenda ku bbicci, okwewala okuyingira amazzi nga batamidde era n'asaba abaziddukanya, okussaawo ebiragiro n'okulondoola abo bonna ababeera bawuga.

Asabye abali mu masinzizo n'ebifo ebisanyukirwamu, okubeera abeegendereza nga beewala ebikolwa eby'ekitujju n'ayagaliza Bannayuganda, okuyita obulungi mu ggandaalo.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});