Eby’emmaali ya BMK: Abaana ne minisita Balaam basobeddwa

Apr 19, 2025

EBY’EMMAALI ya BMK buli lukya byeyongeramu kasobeza. Mu kiseera kino abaana basobeddwa kye bazzaako bwe bakizudde nti n’ebiragiro bya kkooti biyinza obutabayamba, ate nga ne Minisita Balaam asitudde enkundi ku ssente ze.

NewVision Reporter
@NewVision

EBY’EMMAALI ya BMK buli lukya byeyongeramu kasobeza. Mu kiseera kino abaana basobeddwa kye bazzaako bwe bakizudde nti n’ebiragiro bya kkooti biyinza obutabayamba, ate nga ne Minisita Balaam asitudde enkundi ku ssente ze.
Ku Lwokuna abaana baakonkomadde n’ekiragiro kya kkooti, abatwala ebyokwerinda bwe bagaanye okubawa obukuumi okukiteekesa mu nkola. Mu kiseera kye kimu, Minisita Baalam Barugahara, naye asobeddwa bw’asanze ng’ekizimbe ekyamusingirwa ate bbanka kye yatunda, n’alayira okufa n’obutanyagwa ateekwa okusasulwa ssente ze.
Ku Lwokuna ku ssaawa 5:00 ez’oku makya, abaana ba BMK baakedde ku poliisi y’e Kabalagala nga beekakasa nti bagenda kweddiza ekizimbe bakole emirimu gyabwe kubanga baabadde balina ekiragiro kya kkooti enkulu ekyabadde kibawa olukusa basigale nga bakola emirimu gyabwe ku bizimbe ebiri e Buziga ku Mulamula
Road, Block 273 Plot 44.
Kyaddiridde omugagga Dan Meshack Okware eyagula ennyumba za BMK ezisangibwa ku plot 46 mu kitundu kye kimu ate okutwaliramu n’ekkubo erituuka ku plot 44, ekintu aba  amire kye bawakanya.
Mu kiragiro kya kkooti ekiriko omukono gw’omulamuzi Samuel Kagoda Ntende ekyafulumizibwa nga March 27, 2025, kyagaana Okware ne banne okugobaganya
aba  amire ya BMK mu ttaka lino erya plot 44 n’okubataataaganya mu ngeri yonna, okubalemesa okuzimba okutuusa nga kkooti esazeewo ekyenkomeredde mu musango gwe baawaaba oguli ku nnamba 0671/2025.
Kyokka  amire eggulo kyababuuseeko bwe baatuuse ku poliisi y’e Kabalagala n’ekiragiro kya kkooti, omuduumizi wa poliisi, Emmanuel Mafundo n’agaana
okubawa obukuumi n’abasindika bagende ew’omumyuka wa RCC atwala Makindye, Caroline Nashemeza.
Bwe baatuuse ewa Nashemeza yabategeezezza nga bwe wakyaliwo enkaayana ez’amaanyi ku kkubo lye baagala nga balina kusooka kutabagana. “Siremesa kiragiro kya kkootikuteekebwa mu nkola, naye walinaokusooka okubeerawo okutegeeragana
 ku njuyi zombi kuba n’abali ku plot 46 baandeetedde okwemulugunya ku nsonga
y’ekkubo lino,” bwe yagambye.
Yasuubizza nga bw’agenda okutuuza olukiiko mu kifo awali enkaayana ku Lwokubiri lwa wiiki  ejja nga lujja kwetabwamu enjuyi zombi basooke bakkaanye.
Munnamamateeka wa  amire ya BMK, George Muhangi owa MBS Advocates yagambye nti ekyewuunyisa akakiiko akatwala ebyokwerinda kaasoose kutuula
ku Lwokusatu ne bakkaanya ekiragiro kiteekebwe mu nkola.
Ate bw’awulira nga RCC agamba agenda kutuuza lukiiko, kiba ng’ekitegeeza nti agenda kukyusa kiragiro kya kkooti. Eby’ekkubo byakwekwasa kuba ekiragiro kirambika bulungi nti plot 44 ne plot 46 buli emu erina ekkubo lyayo era ebiriwo bya kwekwasa,” Muhangi bwe yagambye.
Abaana ba BMK bagamba nti muganda waabwe Haruna Kalule Muwanga yakozesa empapula enjingirire n’afuna looni mu Yako Bank eyamulema okusasula, era kkooti n’esalawo bbanka etwaleka ettaka lya mulundi gumu eriri ku Plot 46, yeesasule ebbanja lyayo.
Kyokka ekibeewuunyisa ba bbulooka ba bbanka bwe baagenda okweddiza ettaka n’ekizimbe ebiri ku Block 46, ate baatwaliramu n’ekkubo erituuka ku nnyumba z’abapangisa ekiri ku plot 44, kkooti kyetaabawa. Wakati mu kutwala ekizimbe kino, abaana ba BMK bagamba nti babbulooka baakola e

 ujjo eritabangawo, mwe baayita kunyaga ebyuma ebikozesebwa mu kuzimba ebyali mu sitoowa, ebizimbisibwa, n’ebintu ebirala ebyalimu ne babitwala obutalekaawo wadde akantu n’akamu.
MINISITA BALAAM NAYE ASOBEDDWA
Minisita w’abaana n’abavubuka, Balaam Barugahara yategeezezza Bukedde nga bwakyasobeddwa oluvannyuma lw’okufuna ekiragiro kya kkooti ekumukkiriza okuwamba ebintu bya Haruna Kalule Muwanga bye yamusingira ’asanga nga aba banka ya YAKO baabisookako ne babitunda.
Yategeezezza nga bw’abanja sente eziri mu buwumbi obubiri kyokka nga zeeyongerako
buli olukya gye bakoma okulwawo okumusasula.
“Kye mbakakasa sigenda kufi irwa ssente zange era ndagidde balooya bange anoonye
ebintu bya BMK ebirala babibowe tubitunde neesasule ssente zange” bwe yagambye.
Balaam alumiriza nga bwe waliwo abaakyusa ebintu okubiggya mu mannya ga Haruna
Kalule Muwanga ne babiteeka mu mannya amalala. Kyokka byonna ajja kubirondoola abitunde.
“Njagala okutegeeza eggwanga nti situnda bintu bya BMK, wabula ntunda bya mutabani wa BMK gwe nnawola ssente okukolaemirimu gya BMK. Kyokka aba
 amire oluggi lukyali luggule basobola okujja ne tutegeeragana naye bwe bagaana zaakwabika emipiira,” Balaam bwe yalabudde.
Aba Banka ya YAKO ennyumba z’abapangisa ez’omulembe (apartments) eziri ku Plot 46 baazitunda ku kawumbi kamu n’obukadde 800. Baali babanja mutabani wa BMK akawumbi kamu n’obukadde 500 kyokka nga balina okggyako emisoso gya bbanka.
EBIRAGIRO BYA KKOOTI KU KUSENGULA ABANTU
Mu January wa 2021, ekitongole ekiramuzi kyafulumya amateeka agalina okugobererwa
nga basengula abantu ku ttaka. Nga tebannasengula muntu yenna ku ttaka, walina okubeerawo ekiragiro kya kkooti ekituufu ekifulumiziddwa ku nsonga eyo nga
kirambulula abantu bonna be kikwatako.
Poliisi n’abakulembeze mu kitundu balina okutegeezebwa era poliisi erina okubeerawo nga basengula oba nga bamenya ekintu ekiba kiragiddwa. Wannyondo wa kkooti alina okufuna ekifo waakuumira ebintu by’asengudde

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});