Kitalo! Paapa afiiridde ku myaka 88 ku Easter Monday!
Apr 21, 2025
Omutukuvu Paapa Francis, akulira Eklezia Katulika mu nsi yonna,afudde. Ono afiiridde mu ddwaaliro lya Rome Gemelli ku myaka 88 era abadde yaakamala mu ddwaaliro ennaku 38 okuva lwe baalangirira nti tali bulungi.

NewVision Reporter
@NewVision
Omutukuvu Paapa Francis, akulira Eklezia Katulika mu nsi yonna,afudde.
Ono afiiridde mu ddwaaliro lya Rome Gemelli ku myaka 88 era abadde yaakamala mu ddwaaliro ennaku 38 okuva lwe baalangirira nti tali bulungi.
Mu ddwaaliro eryo yavaayo mu March nga 23,2025 ng’afunyeemu olungubanguba kyokka okufa kwe kukubye Abakristu encukwe kubanga ku mazuukira eggulo yalabiseeko eri bo, ku kabalaza ka Saint Peter's Basilica e Vatican.
"Abooluganda abaagalwa, n’ennaku nnyingi mbabikira okufa kwa taata waffe omutukuvu, paapa Francis,” bwe bubaka obwabadde mu kiwandiiko, Cardinal Kevin Farrell kye yafulumizaa ku mukutu gwa Vatican ogwa Telegram.
Yategeezezza nti Paapa yakutuse ku ssaawa 1:35 ez’oku makya kyokka obulamu bwe bwonna bubadde bwemalira mu kuweereza Mukama n’Eklezia.
Kati abakadde b’ekkanisa balina okukung’aana okulonda ani anaamuddira mu bigere oluvannyuma lw’amawulire k’okufa kwe.
Akabuga Vatican mu kiseera kino kagenda kuba katwalibwa Kalidinaali omukulu, amanyiddwa nga Kevin Farrell ng’abakadde bwe banoonya paapa addako.
No Comment