Abalamazi abasoba mu 800 bandisubwa Mecca omwaka guno
Apr 21, 2025
ABATWALA abalamazi e Mecca bali mu kusattira oluvannyuma lw’ebbanga eryabaweebwa okuwaayo omuwendo gw’abalamazi 1,500 gwe bagenda okutwala omwaka guno kyokka Abasiraamu bangi tebannasasula.

NewVision Reporter
@NewVision
ABATWALA abalamazi e Mecca bali mu kusattira oluvannyuma lw’ebbanga eryabaweebwa okuwaayo omuwendo gw’abalamazi 1,500 gwe bagenda okutwala omwaka guno kyokka Abasiraamu bangi tebannasasula.
Okusinziira ku nteekateeka z’abatwala Abalamazi, mu kiseera kino hijja y’omwaka guno esuubirwa okubaawo ku ntandikwa y’omwezi gwa June era eggweera mu bukadde 22 nga kuno kuliko ez’entambula, okusula n’emisoso emirala.
Kyewalyanga yannyonnyodde nti, ab’e Saudi Arabia baabawa ekiseera ekigere kye balina okuba nga bakakasizza omuwendo gw’Abalamazi basobole okubakolera enteekateeka ennungi, nti naye mu kiseera kino abakakasa okulamaga kwabwe mu bibiina ebigenda okubatwala bali 520 bokka era Viza zaabwe zifulumye.
Okusinziira ku kibiina kya Uganda Bureau of Hajj Affairs, ekikulira okutwala Abalamazi e Mecca, Uganda omulundi guno yandiremererwa okuweza omuwendo ogw’abalamazi 1,500 ogwagiweebwa gavumenti y’e Saudi Arabia, nga mu kiseera kino bonna bandibadde bamaze okusasula nga ne Visa zifulumye ekitannaba, nga Ssentebe w’ekibiina kino, Sheikh Zakaria Kyewalyanga bwe yategeezezza.
Kyewalyanga yagambye nti, mu kiseera kino bakyali mu kwogerezeganya ne gavumenti y'e Saudi Arabia esobole okubongerayo ekiseera eri Abalamazi ababadde bakyakeereyeemu olw’ensonga ezitali zimu basobole okusasula.
“Tukola kyonna ekisoboka okulaba nga gavumenti y’e Saudi Arabia etwongerayo ku budde, kubanga abantu baffe bangi babadde tebannaba kwewandiisa n’okusasula ebyetaagisa,” Kyewalyanga bwe yagambye.
Visa z’abalamazi 520 zokka ze zikyafulumye, kyokka n’akubiriza n’abo abatannamalayo kusasula okukikola mu bwangu n’ezaabwe zisobole okufuluma. Abalamazi abasoba mu 1,500 be bagenda e Mecca buli mwaka.
Wabula ku mulundi guno nnamba ekyali ntono nnyo nga tekimanyiddwa oba kivudde ku bwavu obungi obuliwo.
No Comment