Munnamagye Kazoora afudde akyakukkuluma

Apr 22, 2025

MUNNAMAGYE Maj. John Kazoora eyayaniriza Omulangira Mutebi mu ddwaniro mu lutalo olwaleeta gavumenti eno mu buyinza afudde akukkuluma.

NewVision Reporter
@NewVision

MUNNAMAGYE Maj. John Kazoora eyayaniriza Omulangira Mutebi mu ddwaniro mu lutalo olwaleeta gavumenti eno mu buyinza afudde akukkuluma.

Maj. Kazoora eyafiiridde ku myaka 69, alese obunyiikaavu bwe yabussa mu kitabo, “Betrayed by My Leader”.

Kazoora eyaliko omubaka wa Kashari mu Palamenti eyomukaaga n’eyomusanvu yatabuka ne Museveni n’atuuka n’okumuwandiikako ekitabo ng’alaga bwe yava ku mulamwa gw’okulwanirira omuntu wa bulijjo.

Yeegatta ku kibiina kya FDC ekyali kikulemberwa Dr. Kiiza Besigye n’oluvannyuma Maj Gen. Mugisha Muntu abaaliko balwanyi banne.

Abakungubazi baakuhhanidde mu maka g’omugenzi ne bamukungubagira n’okumujjukirako ebirungi byakoledde ensi ye.

Omubaka Margaret Rwebyambu (mukazi/Mbarara) yamwogeddeko ng’abadde taluma mu kigambo.

Basil Bataringaya (Kashari North) yagambye nti omugenzi yayigiriza abantu b’e Rutooma okukyusa obulamu bwabwe mu byenjigiriza n’okulwanyisa obwavu mu maka.

Abakristayo mu kkanisa y’e Rutooma bamujjukira olw’obuyambi bwe yabawa mu kuzimba ekkanisa yaabwe n’essomero lya Rutooma SSS.

Francis Mwijukye (Buhweju) ne Alex Byarugaba Bakunda (Isingiro South) baagambye nti Kazoora abadde musajja atetiiririra ku nsonga yonna.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});