Akulira KCCA alagidde okukwata abayiwa kazambi n’amazzi g’ebinaabiro mu myala
Apr 28, 2025
AKULIRA KCCA, Hajati Sharifa Buzeki alagidde okukwata abantu abata kazambi n’amazzi agava mu binaabiro.

NewVision Reporter
@NewVision
AKULIRA KCCA, Hajati Sharifa Buzeki alagidde okukwata abantu abata kazambi n’amazzi agava mu binaabiro.
Yabadde yeetabye mu nteekateeka y’okuyonja Mulimira zooni e Bukoto mu nkola eyatuumibwa Weeyonje n’agamba nti waliwo abantu naddala abazimba kaabuyonjo n’ebinaabiro okumpi n’emyala abata kazambi n’akulukutiramu ekivaako okusaasaanya obucaafu so nga mu myala gino n’abaana oluusi bazannyiramu ekiteeka obulamu bwabwe mu matigga.
Hajjati Buzeki Ng'akutte Akadeeya Mwe Baabadde Bateeka Kasasiro.
Yagambye nti abalina ebinaabiro bateekwa okusima ebinnya amazzi mwe gagenda okusinga okugaleka ne gakulukuta ate abalina kaabuyonjo bwe ziba zijjudde bafune ebimotoka bizinuunemu kazambi okusinga okumuta n’akulukutira mu myala.
Meeya wa Nakawa, Paul Mugambe yagambye nti Munisipaali yeetaaga ebimotoka ebikozesebwa okugogola emyala kuba ebiseera ebisinga bye bakozesa bipangisibwa.
Yagambye nti nnamutikwa w’enkuba eyatonnya gye buvuddeko yakosa abantu naddala mu Mulimira Zooni ne bafiirwa n’abaana babiri.
Ekizibu kyateekebwa ku myala egizibikira olw’abasuulamu kasasiro n’okubeera emifunda
No Comment