Poliisi ekutte 9 bagiyambeko mu kunoonyereza ku mmundu eyakwatiddwa n'abatuuze

Apr 28, 2025

POLIISI ekutte abantu Mwenda, bayambeko mu kunoonyereza ku mmundu eyasangiddwa n'omutuuze.

NewVision Reporter
@NewVision

POLIISI ekutte abantu Mwenda, bayambeko mu kunoonyereza ku mmundu eyasangiddwa n'omutuuze.

Emmundu eno, esangiddwa mu maka ga Clavine Ojoko ku kyalo Langero mu disitulikiti y'e Nwoya, era nga kigambibwa nti waliwo eyagigula nti n'oluvannyuma n'agumuteresa.

Omwogezi wa poliisi Kituuma Rusoke, agambye nti okunoonyereza ku ngeri gye baagifunyeemu, kugenda mu maaso.

Kituuma era ategeezezza nga bwe bakyagenda mu maaso n'okwekennwenya kontulaki za SPC abali mu poliisi okumanya enkola yaabwe.

Annyonnyodde nti abo abatakola bulungi, baakuwummuzibwa ate abakola obulungi, bagende mu maaso n'emirimu.

Mu ngeri y'emu era akakasizza nga Eddie Mutwe, bwe yakwatiddwa naye nga tannamanya kifo kituufu, gy'akuumirwa.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});