Abadde yeeyitwa owa Towncouncil n'asolooza ssente z'ebizimbe e Kasangati bamukutte ne gamumyuka
Apr 29, 2025
Abadde agufudde omugano ng’aggya ssente z'ebizimbe ku balandiroodi nga yeeyita omukozi wa Town Council gamumyuse bwe bamukutte lubona ng’aliko gw’abadde amaze okufera ssente.

NewVision Reporter
@NewVision
Abadde agufudde omugano ng’aggya ssente z'ebizimbe ku balandiroodi nga yeeyita omukozi wa Town Council gamumyuse bwe bamukutte lubona ng’aliko gw’abadde amaze okufera ssente.
Oluvanyuma lwa Town clerk wa Kasangati omuggya, Muganga Judi okwesogga ofiisi, yavaayo n’atandika okulondoola obuzibu kwe buva era wano yatandika okuteeka abantu be abeekyama mu ‘field’ okulaba wa omusolo gwa kkanso gye gubulira kubanga abantu baabwe abasinga babadde bajjumbira okugusasula.
Mmeeya Muwonge Ng'annyonnyola.
Kati abamu ku bantu abakolera council mu kyama baliko omuvubuka Ssekamwa Arafat 25, abadde awangaalira e Kabanyoro ekisangibwa mu Town Council y’e Kasangati mu disitulikiti y’e Wakiso gwe bakutte olubona ng’aliko nannyini kizimbe ataagadde kulabikira mu kkamera zaffe gw’abadde amaze okuggyako ssente.
Arafat Eyakwatiddwa.
Akkiriza okuggya ssente ku balandiroodi era n’agamba nti abadde aludde ng’akikola ng’abasoloozaako obukadde 3 n’akozesa olukujjukujju ng’abasuubizza okubasalirako ku misolo Town Council gy’ebeera ebagerekedde kyokka oluzimukwasa ng’abulawo tebaddamu kumukubako liiso.
Muganga Jude, Town Clerk wa Town Council y’e Kasangati asaose kuvumirira kikolwa kino omuvubuka ono Ssekamwa ky’abadde akola bw’atyo n’ategeeza nga bwe bamukwasizza poliisi ebayambe okusobola okuzuula abalala b’abadde akola nabo.
Muganga, Town Clerk Ng'annyonnyola.
Awadde abantu amagezi ku nsasula y’emisolo n’abasaba okwetuukiranga ku kitebe kya Kasangati Town Council beleme okubuzaabuzibwa.
Mmeeya wa Kasangati, Tom Muwonge naye avumiridde ekikolwa eky’omuvubuka okwefuula ky’atali n’asiima abakozi ba Town Council abaakoze ekisoboka ne bakwata omuvubuka ono.
Oluvannyuma ono atwalidda poliisi y’e Kabanyoro okwaza ennyumba ye kyokka eno mpaawo kintu kyonna kye bazuddeyo.
Bwebavude eno, atutte ku bimu ku bizimbe by’azze anyagako ssente n’oluvannyuma n’addizibwayo ku poliisi e Kasangati gy’akuumirwa era essaawa yonna waakusimbibwa mu kkooti.
No Comment