Dr. Johnson Byabashiaja akoze enkyukakyuka mu baserikale

Apr 29, 2025

Akulira amakomera mu ggwanga, Dr. Johnson Byabashiaja, akoze enkyukakyuka mu baserikale abamu n'abawa ofiisi empya ate abalala ne bawummula.

NewVision Reporter
@NewVision

Akulira amakomera mu ggwanga, Dr. Johnson Byabashiaja, akoze enkyukakyuka mu baserikale abamu n'abawa ofiisi empya ate abalala ne bawummula.

Mu bamu ku baweereddwa obuvunaanyizibwa obulala, mwe muli Moses Okello Atine { SP} abadde mu by'amayumba n'okuzimba kati ye maneja w'ebizimbe.

Karol Draburu  { SP } eyaakava mu luwummula asindikiddwa Arua akole nga DPC , Charles Muliko { SP } nga naye abadde yaakava mu luwummula, atwaliddwa Iganga nga OC avunaanyizibwa mu kuddaabiriza.

Abalala abalondeddwa, kuliko Godfrey Boogere Principal Officer okuva e Tororo asindikiddwa Rubirizi ku kkomera eppya okukola nga OC.

Sam Chandia aggyiddwa e Nakasongola kati ye OC Lobule Prison  ng'azze mu kifo kya Ismail Onzima ng'ono alindiridde kuwummula.

Mu kiwandiiko okussiddwa omukono gwa Frank Baine omwogezi w'ekitongole kino, kiraga nga waliwo n'abaserikale abalala bangi, abaweereddwa obuvunaanyizibwa mu bifo eby'enjawulo era nga batandikiddewo okukola.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});