Omuvubuka eyasooberedde abaana ba baliraanwa be 2 n'abasobyako poliisi emukutte!
Apr 29, 2025
POLIISI y'e Ssanga- Matugga mu diviizoni y’e Gombe mu Nansana munisipaali ekutte n’eggalira omuvubuka eyasooberedde abaana ba baliraanwa be babiri n’abasobyako ng’omu wa myaka etaano ate omulala nga wa mwaka gumu n’ekitundu.

NewVision Reporter
@NewVision
POLIISI y'e Ssanga- Matugga mu diviizoni y’e Gombe mu Nansana munisipaali ekutte n’eggalira omuvubuka eyasooberedde abaana ba baliraanwa be babiri n’abasobyako ng’omu wa myaka etaano ate omulala nga wa mwaka gumu n’ekitundu.
Akwatiddwa ye Sibomana Gean Batisita 30, omutuuze ku kyalo Buwonzi ekisangibwa mu diviizoni y’e Gombe ono akwatiddwa ku kyalo oluvannyuma ly'okusobya ku baana babiri.
Kigambibwa nti Batisita abadde mukwano gw'abaana bano era abazadde bangi ku kitundu babadde bamwesiga kyokka nga tebamanyi nti asobya ku baana bano.
Abaana abagambibwa okukwatibwa.
Batista okumukwata kyavudde omu ku maama wa baana bano ayitibwa Nantale Hatika okusanga Batisita ng’asibidde abaana bano mu nnyumba ye ekyabaviriddeko okumwekengera era n ebayomba naye nga wano yabadde amaze okubakozesa.
Abazadde bano babuuzizza abaana bano ne bannyonnyola engeri Batisita gyabadde abakozesaamu nga kumpi buli lunnaku abadde abakozesa nga ennaku ezimu abadde abakozesezza mu nnyumba ye ate ennaku endala abadde abakozeserezza mu bifulukwa.
Batista bwe yategedde nti bamugguddemu yasazeewo okudduka ekyawalirizza abazadde okuddukira ku poliisi ye Ssanga eyakoze okunonyerezza okulaba nga bamukwata era mukaseera kano akuumibwa ku poliisi ye Ssanga.
Batisita Bw'afaanana
Abatuuze mu kitundu kino bagambye nti omusajja ono abadde mukwano gw'abaana baabwe naye ekisinga okwewuunyisa ennaku ezimu abadde abagulira bisikwiti nga kati bali mu kutya oba abaana baabwe ddala teyabakozesa.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Oyowesigyire yagambye nti omusajja ono waakuvunanibwa mu mateeka era asabye abantu ab’enjawulo ssinga babeera baliko abaana abalala be beekengera nti yabasobyako batwale okwemulugunya ku poliisi y’e Ssanga era nti waakuvunanibwa mu mateeka.
No Comment