Omukozi bakama me gwe baawadde obukadde 50 abutwale mu bbanka bamufereddeyo ebicupuli bya ddoola

Apr 29, 2025

Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango akakasizza obunyazi buno obwakoleddwa mu bbanka ya Centenary ettabi ly’e Lubaga ku Klezia n’ategeeza nti waliwo babiri be baafunye ku butambi era balondoolebwa.

NewVision Reporter
@NewVision

POLIISI eri ku muyiggo gw’abafere babiri abakutte omukozi wa kkampuni obujega abadde atutte obukadde 50 mu bbanka okuzitereka ne bamuwaamu ebicupuli bya ddoola.

Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango akakasizza obunyazi buno obwakoleddwa mu bbanka ya Centenary ettabi ly’e Lubaga ku Klezia n’ategeeza nti waliwo babiri be baafunye ku butambi era balondoolebwa.

Ekifaananyi Kya Kkamera Ekiraga Omu Ku Bafere Abaatutte Ssente.

Ekifaananyi Kya Kkamera Ekiraga Omu Ku Bafere Abaatutte Ssente.

Onyango agamba nti nga February 11, 2025 omuvubuka Micheal Muwonge abadde akola ng’amyuka maneja wa kkampuni ya Emma Plastics e Nalukolongo yaweebwa obukadde 50 okuzitwala ku akaawunta y’ekitongole okuzitereka kyokka ne bazimubbako.

Kigambibwa nti ono (Muwonge) olwatuuka mu bbanka, yatuula awo era kiteeberezebwa ababbi baali baamusomye dda ne batandika okumulimba nti nabo bazze kutereka zi ddoolla zaabwe kyokka ne bamugamba nti ettabi eryo baali bakola kasoobo,ne bamusaba bagende ku ttabi eddala naye kye yakkiriza.

Okusinziira ku katambi ka bbanka, Poliisi ke yalaze, kalaga nga Muwonge anyumya n’abasajja babiri oluvannyuma ne bafuluma.

Olwatuuka e kabuusu, baamubbako ekisawo omwali ssente ne bamulekera ekibaasa omwali ebipapula, ye ze yali alowooza nti ddoola, bo ne babulawo.

Muwonge Gwe Baafeze.

Muwonge Gwe Baafeze.

Yaddayo mu bakama be abaali bamuwadde ssente n’abanyumiza nga bwe bamubbye. Tebaasooka kukkiriza era ne bamukwata okumutwala ku poliisi nga kirowoozebwa yeekobaanye n’ababbi ne bazitwala.

Onyango agamba kkampuni yabatwalira omusango era ne baggulawo ffayiro CRB; 389/2025 e Nateete okunoonyereza ne kutandika ono n’ateekebwa mu kaduukulu.

Oluvannyuma lw’okulaba ebifaananyi bya bbanka, Poliisi yalaba abafere bano nga bali ne Muwonge era ye n’ayimbulwa kati abafere ababiri bayiggibwa.

Onyango asabye omuntu yenna alina amawulire g’abantu abo agaleetere Poliisi naddala okutaasa abantu obutabbibwa mu ngeri efaanana etyo.

Akubirizza abantu okwebeereramu ku bintu byabwe n’abasaba nti bwe baba balina kye baagala, kirungi okulaba omukozi wa bbanka okusinga abataayaaya kuba abamu babbi.

Benon Ssemmambo Maneja wa Emma Plastics anyumya nti baagwamu encukwe nga kkampuni oluvannyuma lw’okuwulira nti mukozi munnaabwe abbiddwa ssente kyokka ye yabategeeza nti abafere mu bbaank baamutiisatiisa.

Agamba ababbi baabula era bakyayiggibwa. Akubirizza abatwala ssente mu bbanka okukola ekibatutte kuba ababbi beesomye okubatwalako ssente.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});