Eyasinziira ku Tiktok n'avvoola Abaganda ne Kabaka asindikiddwa mu nkomyo ne yeegayirira ; "Bwali busungu"

Apr 30, 2025

Omuvubuka eyeeyita Omunyarwanda asindikiddwa Luzira lwa kuvvoola Kabaka n'Obuganda.

NewVision Reporter
@NewVision

Omuvubuka eyeeyita Omunyarwanda asindikiddwa Luzira lwa kuvvoola Kabaka n'Obuganda.

Geoffrey Mugisha 25, olumu nga yeeyita Kempaka omutuuze w’e Munyonyo mu disitulikiti y’e Wakiso ye yasimbiddwa mu maaso g'omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road, Ronald Kayizzi eyamusomedde omusango gw'okuvvoola Abaganda wamu ne Kabaka ng’akozesa omukutu gwa Tiktok ekikolwa ekisiga obukyayi mu bantu.

Mugisha Bw'afaanana Mu Kaguli Ka Kkooti.

Mugisha Bw'afaanana Mu Kaguli Ka Kkooti.

Kigambibwa nti mu mwezi gwa April 2025 Mugisha ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Tiktok oguli mu mannya ga @Kampak2 mu bitundu by’e Bulenga, yasiga obukyayi mu bantu ng’avvoola Abaganda nga abayita abaalemwa wamu n’okutegeeza nti Kabaka wa Buganda si yasaanidde okubeerako. 

Teyakoma kwogera ebyo, yagattako n'okutiisatiisa nga bwe bagenda okyusa Abaganda bafuuke abanyarwanda ku mpaka wamu n’obutaddamu kweyita kye batali.

Mugisha yeegaanye omusango guno wabula n'ategeeza nti yalina obusungu ku muntu eyali akomentinze ku katambi akamu ke yateekayo nga agamba nti abanyarwanda bagenda kuddayo e Rwanda.

Ye kwe kumuddamu mu busuungu wabula ono yetondedde Obwabakabaka bwa Buganda wamu ne Kabaka nga kw’otadde n'omukulembeze w’eggwanga okumufuula Kabaka wa Banyarwanda era nga yategeeza nti ye Kabaka omutuufu.

Abasirikale baalondoola Mugisha n’akwatibwa era yasoyezebwa ebibuuzo oluvannyuma n’akkiriza nti kituufu yabyogera wabula nga yakikola mu busungu.

Omuwabi wa gavumenti mu musango guno, Ivan Kyazze yategeeza kkooti ng’okunoonyereza bwe kukyagenda mu maaso era nti beetaaga okutwala essimu eyakwata akatambi kano okugenda okwekebejjebwa obulungi.

Mugisha yasabye kkooti okweyimirirwa wabula abazze okumweyimirira baabadde tebalina mpapula ziboogerako. Wano omulamuzi Kayizzi we yasinzidde n’amusindika mu nkomyo e Luzira yeebakeyo okutuusa nga May 19, 2025.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});