Abaasaba okuyingira ekitongole ky'amakomera baakuweebwa yintaaviyu
Apr 30, 2025
E Luweero , Nakasongola ne Nakaseke, interview , zaakubeera mu kisaawe ky'e Kasana nga May 14 ku Lwokusatu.

NewVision Reporter
@NewVision
ABAASABA okuyingira ekitongole ky'amakomera , baakuweebwa yintaaviyu okutandika nga May 12, okutuukira ddala nga May 16 okwetooloola eggwanga .
E Luweero , Nakasongola ne Nakaseke, interview , zaakubeera mu kisaawe ky'e Kasana nga May 14 ku Lwokusatu.
E Wakiso ne Kampala , okusunsulamu kwakubeera ku Prison Show ground e Luzira ku Monday 12 n'Olwokubiri nga 13.
E Mpigi , Butambala, Gomba, bakubeera ku Mpigi police playground ku Lwokusatu nga 14 , ate Masaka, Sembabule, Lyatonde , Kalungu, Lwengo, Bukomansimbi, Masaka City, Kalangala , Rakai ne Kyotera , bakubeera ku Ssaza grounds ku Lwokuna nga May 15.
E Buliisa, Hoima, Hoima city, Kiboga, Kyankwanzi ne Kikuube, baakubabuuza nga May 15 ku Hoima Boma grounds .
Okusinziira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa, yintaaviyu zino, zaakukolebwa nga May 12 okutuukira ddala May 16,2025.
No Comment