Endwadde z'obwongo zetaaga okunogerwa eddagala nga bukyali-Maama Nnaabagereka
May 03, 2025
NNAABAGEREKA Sylivia Nagginda akunze abantu okuvaayo mu maanyi okuwagira kaweefube gwaliko ow’okusakira n’okujjanjaba abo abatawanyizibwa endwadde ez’enjawulo ez’omutwe.

NewVision Reporter
@NewVision
NNAABAGEREKA Sylivia Nagginda akunze abantu okuvaayo mu maanyi okuwagira kaweefube gwaliko ow’okusakira n’okujjanjaba abo abatawanyizibwa endwadde ez’enjawulo ez’omutwe.
Nnaabagereka agamba nti okuwaayo buli omu kyalina okuyita mu kitongole kye ki Nnaabagereka Nnagginda Women’s Fund (NNWF) ky’ekimu ku kigenda okuyamba okuzza engulu obulamu bw’abantu enkumi n’enkumi abatawanyizibwa n’endwaddwe z’Obwongo.
Omuyimbi Azawi ng'asanyusa abantu
Okwogera bino asinzidde ku Speke Resort Munyonyo mu kiro ekikeeseza olunaku lwa leero mu kijjulo kya Nnaabagereka ekigendereddwamu okunoonyezamu ensimbi ezinayamba okuzza engulu obulamu bwabo abatawanyizibwa endwadde z’emitwe bwatyo neyeebaza bonna abavuddeyo mu nteekateeka eno.
“ Buli omu ali wano ng’aliko kyatodde;obudde,ebintu eby’enjawulo,amaanyi n’obuwagizi ge mafuta agagenda okutambuza enteekateeka eno eyetaaga okukolebwako mu bwangu. Mwebale nnyo okujja mwebalire ddala,tusiimye nnyo,era tusiima bwongerwa,” Nnaabagereka abadde anekedde mu luogye olumyu bwagambye.
Maama wa Buganda ayongedde n’ategeeza ng’ekizibu ky’endwadde z’obwongo bwekitanafuna kulowozebwako n’okwogerako mu mbeera z’abantu eza bulijjo kubanga okutya kukyali kung inga buli ekizibu kino ayagala okukyemalira.
Ku mukolo guno ensimbi obukadde 15 okuva mu I&M Banka (Abavujjirizi abakulu ab'ekijjulo kino) ziwereddwa abaana mukaaga abawangudde n’okukola obulungi mu mpaka z’okwogera ku kyebamanyi ku ndwadde z’obwongo n’engeri gyeziyinza okwewalibwa n’okujjanjabibwa.
Maama Nnaabagereka ku mukolo e Munyonyo
Ate n’abantu abasukka 20 bawereddwa engule ezibeebaza olw’okuwagira emirimu gy’ekitongole kino ki NNWF ate n’okubeera ababaka b’okubunyisa kaweefube alwanirira eby’obulamu by’obwongo ebirungi.
Ye Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ategeezezza nga kaweefube Nnaabagereka gwaliwo ow’okuddabulula ebirowoozo by’abantu bweguli ogw’enkizo kubanga bangi olw’okuba n’ebirowoozo ebitatebenkedde kivaamu ebibi bingi okuli ettemu,obukyaayi,obukambwe obutaagaliza n’ebirala bingi.
“N’olwekyo waliwo obwetaavu okubabuda emmeeme z’abantu ereme kufafagana ekiyinza okuvaamu ebikolwa eby’ettima ng’okutemula abantu,” Mayiga bwasabye.
Sarah Lubega yasinzidde wano neyeebaza abasawo bonna abali ku ddimu ly’okulabirira abantu abatawanyizibwa obulwadde bw’obwongo era n’asaba ebitongole bya Yinsuwa okuyingiza ekirwadde ky’obulwadde bw’obwongo kweezo endwadde zebateekako yinsuwa.
Maama Naabagereka ng'atuuka ku mukolo e Munyonyo
Minisita w’amawulire,okukunga abantu era Omwogezi w’Obwakabaka, Israel Kazibwe Kitooke y’akikkiridde Minisita w’embeera z’abantu mu Buganda, Coltilda Nakate Kikomeko n’ategeeza ng’Obwakabaka bwe buli mu kaweefube w’okulaba ng’embeera z’abantu ziterera okuyita mu nteekateeka ezitumbula ebyenfuna n’obulamu bwaabwe.
Kino kijjulo kya mulundi gwa kubiri nga kyatambulidde wansi w’omulamwa ogugamba nti “Okujjanjaba ebirowoozo” ate ng’omwaka oguwedde gwaali wansi wa kaweefube w’okubunyisa amawulire ku bulwadde buno.
Katikkiro Mayiga ng'abuuza ku mugagga Sudhir e Munyonyo
Omukolo guno gwetabiddwako ebikonge bingi okuli Sipiika w’Olukiiko lwa Buganda Patrick Mugumbule, Baminisita okuva mu gavumenti eyawakati okuli Ruth Nankabirwa ow’amasanyalaze,obugagga mu ttaka, Joyce Nabbosa Ssebugwawo nga ye mubeezi ow’ebyempuliziganya, Abalamuzi nga Catherine Bamugemereire n’abakungu abalala.
Bano baasanyusiddwa omuyimbi Priscilla Zawedde amanyiddwa nga Azawi, Abeeka Band n’abalala
No Comment