Aba NRM ne NUP balwanira bifo mu Buganda
May 03, 2025
WAGENDA kubaawo vvaawompitewo mu kulonda kwa 2026 wakati wa NRM ne NUP nga buli ludda lunoonya okuwangula Buganda.

NewVision Reporter
@NewVision
WAGENDA kubaawo vvaawompitewo mu kulonda kwa 2026 wakati wa NRM ne NUP nga buli ludda lunoonya okuwangula Buganda.
Kiddiridde NRM okuwangulwa obubi NUP mu Buganda mu 2021, ekitundu kye baali batawangulwangako okuva mu 1996. Mu Buganda, NRM yafuna obululu
ebitundu 35 ku 100 ate Kyagulanyi n’afuna 62 ku 100. Ku babaka ba Palamenti, NUP yasinga n’ababaka 55 nga NRM baagiggyako ebifo 22. Ababaka ba Palamenti ne
baminisita abava mu Buganda baatongozza kaweefube w’okununula Buganda gwe baatuumye ‘Museveni for Buganda’.
Baliko enkung’aana ze bategeka mu bitundu eby’enjawulo nga bwe balaga abantu ebirungi bya NRM n’okubasaba bagironde mu 2026.
Baasookera Mmengo ku kitebe ky’Obwakabaka gye baasisinkanira Katikkiro wa Buganda, Peter Mayiga ne bawaayo obukadde 30 ziyambeko okulwanyisa mukenenya.
Katikkiro yawadde NRM amagezi okukola ebisanyusa abantu ba Buganda ne Kabaka
waabwe. “Aba NRM bwe muba mwagala Abaganda babaagale, mwagale Kabaka, kye kyokka. Mukole ebimuwa essanyu.....,” Mayiga bwe yagamba.
Ssentebe w’akabondo k’ababaka ba NRM mu Buganda, Migadde Ndugwa yagambye nti bingi ebikoleddwa omuli okuzimba enguudo, amalwaliro, amasomero
nga n’ekitundu kirimu emirembe egikisobozesezza okukulaakulana.
Ebimu ku bitundu ababaka n’abakulembeze ba NRM mu Buganda bye batuseemu kuliko; Kiboga, Kaliisizo mu Kyotera, Buvuma ne Mubende. Baalaze abantu ebikoleddwa Gavumenti ng’okuzimba amasomero n’amalwaliro, Emyooga, Parish
Development Model (PDM) n’ebirala.
Amyuka Ssaabawandiisi wa NRM, Rose Namayanja, yagambye nti ekiseera kituuse abantu ba Buganda bazuukuke ng’ebitundu by’eggwanga ebirala tebinnabayitako mu nkulaakulana. “Mu babaka ba NRM mwe tuyita okusaba obuweereza mu Gavumenti.
Ekyetaagisa mu 2026 kwe kulonda
Pulezidenti Museveni n’ababaka ba NRM abanaalondoola enkola za Gavumenti ez’okwekulaakulanya,” Namayanja bwe yagambye. Amyuka ssentebe wa NRM
atwala Buganda, Godfrey Kiwanda Ssuubi yasabye abawagizi ba NRM okubeera obumu mu kulonda okujja kuba kikulu nnyo. Ezimu ku nsobi ezaabawanguza mu kulonda okuwedde baalimu okwerumaaluma, ekintu kye yagambye nti bakirwanyeeko nga bayita mu kutabagana. Gye buvuddeko waaliwo kaweefube eyatuumibwa ‘Kisoboka Agricultural Expo’ eyatongozebwa Kiwanda mwe baategekera emisomo gy’ ulimi mu bitundu bya Buganda eby’enjawulo nga bayigiriza
abantu okulima.
Emisomo gibeeramu abalimisa, n’abakola ebintu ebyeyambisibwa mu bulimi nga bawa abantu amagezi ku nnima ey’omulembe beggye mu bwavu. Kaweefube ono waakutambuzibwa mu disitulikiti za Buganda zonna.
Akulira emirimu gya ofiisi ya ssentebe wa NRM mu bitundu bya Mubende, Topista Tindimwebwa yagambye nti abantu bangi bejjusa olw’engeri gye baalondamu mu
2021 ekibalemesezza okufuna obuweereza obulungi.
“Ng’abawagizi ba NRM singa bakolera wamu ne bakomya okwerwanyisa, tujja kuwangulira waggulu mu Buganda. Abantu baalinaokucamuukirira olw’omuyaga gwa NUP, kyokka bangi bakizudde ng’ate eyo ebizibu bye balina tobigeraageranya
na NRM,” Tindimwebwa bwe yagambye.
Owaamawulire mu ofiisi ya ssentebe wa NRM e Kyambogo, Moses Kintu yagambye nti Pulezidenti akozesezza nnyo ofiisi yaabwe ekulirwa Hajati Hadijah amyalo o uwangula emitima gy’abantu ba Buganda. Oluvannyuma lw’okukizuula ng’abantu
bakaaba ebbulwabikolwa n’obwavu, Namyalo yatandika okutalaaga disitulikiti ez’enjawulo ng’abawa ebintu ebikozesebwa mu mirimu egy’enjawulo.
Kyokka n’embeera y’ekibuga Kampala yennyini ekyuse olw’enguudo ennyingi ezikoleddwa era endabika y’ekibuga
ye agaza era okulonda we kunaatuukira ng’ekibuga kyonna kitemya.
NUP EYAGALA ABABAKA 100 MU BUGANDA
Amyuka Pulezidenti wa NUP atwala Buganda, Muhammad Muwanga Kivumbi (Butambala) yagambye nti ku babaka 55 be balina mu Buganda, baluubirira
kubongereko bawere 100.
Kivumbi agamba mu 2026, baagala kutwala buli kifo ekiri mu Buganda omuli n’okusiguukulula aba NUP abatategeerekeka ntambula zaabwe. Olw’okuba baagala kukwata buyinza mu 2026, beetaaga okubeera n’ababaka abawera okwetooloola eggwanga. NUP okufaananako NRM, nabo beekutte ku Bwakabaka bwa Buganda
nga beenyigira mu mirimu gyonna egibaayo. Mu misinde gy’amazaalibwa ga Kabaka omwezi oguwedde, baawaayo obukadde 20.
Munnamateeka wa NUP, George Musisi, akkiriza nti ekibiina kye kisobolera ddala okuwangula ababaka 100 mu Buganda lwa nsonga nti mu 2021 tebaafuna budde
bumala kwetegeka. Ekyokubiri balina konsitityuwensi nnyingi ze bataasimbamu bantu, ekitagenda kubeerawo mu 2026.
“Ekikulu mu byonna, ensonga ezaalondesa NUP ezaanyiiza, abantu tezivuddeewo kuba
ebikolwa by’obukenuzi, ekibbattaka, okutulugunya abantu nga bwe babuzibwawo byeyongera bweyongezi” Musisi bw’agamba.
Mu kiseera kino balina n’obukulembeze okuva wansi ku byalo era bakoze kinene
okwongera okunnyikiza enjiri y’ekibiina wansi mu bantu. Ssaabakunzi wa NUP, Fred Nyanzi yalabudde bannakibiina okwewala enjawukana n’okukuubagana kuba bikendeeza amaanyi gaabwe. Yabasabye bonna okuwagira omuntu yenna anaafuna tiketi
y’ekibiina nga tebazze mu kunonooza bintu birala. Abagamba nti tiketi z’ekibiina zitundibwa yagambye nti si kituufu.
“Njagala kitegeerekeke bulungi, tikti zaffe eza NUP tezitundibwa.
Pulezidenti waffe Robert Kyagulanyi azze asaba omuntu yenna alina obujulizi nti baamuggyako ssente okuvaayo, kyokka tewali yali azze. Tuli kibiina ekirwanyisa obuli bw’enguzi, ate tewali ngeri gye tuyinza kutunda tiketi,”
Nyanzi bwe yagambye.
Ssaabawandiisi wa NUP, Lewis Rubongoya yagambye nti ensonga y’okugaba tiketi z’ekibiina mu kulonda kwa 2026 bagenda kugikwata n’obwegendereza.
“Tulina okukimanya nti bwe mubeera abantu mwenda abaagala tiketi ya NUP, mwenna temuyinza kugifuna. Omu y’agifuna era abeera agitutte, olina okuba n’ekigendererwa ky’okulaba ng’otuusa NUP mu buyinza,” Rubongoya bwe yagambye.
Ekibiina kya NUP era kikoze entegeka y’okulaba ng’ekibiina kifuna abakuluembeze ku buli mutendera okuva wansi okutuukira ddala waggulu. Enkola ejja okuyitibwamu ye y’okukuba ttooci mu beegwanyiza ekifo awamu n’okutunuulira obuganzi
bwabwe mu bantu. Wajja kubeerawo akakiiko ak’enjawulo akabekenneenya.
Munnamateeka wa NUP, George Musisi, era yayongeddeko nti ku buli kyalo balinako
abakulembeze 30 era ng’ebitundu yonna gye bataali, mu kiseera kino bamaamiddeyo.
Agamba nti abantu bennyini yagambye bakoowu nnyo olw’embeera ebanyigiriza nga;
ebbula ly’emirimu, obwavu bungi, ebikolwa by’obusosoze ng’essuubi lyabwe lyonna balirina mu NUP.
No Comment