Owa North Korea asabuukuludde emmeeri ‘Kaliba’ n’asomooza America

May 03, 2025

OMUKULEMBEZE wa North Korea, Kim Jung un, 41, asabuukuludde emmeeri ennwaanyi etabangawo mu byafaayo by’eggwanga eryo n’alaalika Amerika ne South Korea bamugendeko mpola.

NewVision Reporter
@NewVision

OMUKULEMBEZE wa North Korea, Kim Jung un, 41, asabuukuludde emmeeri ennwaanyi etabangawo mu byafaayo by’eggwanga eryo n’alaalika Amerika ne South Korea bamugendeko mpola.
Emmeeri eno eyitibwa ‘Choe Hyon’, eri mu kika ky’emmeeri ennwaanyi ekya ‘Guided
Missile Destroyer’ ng’erina obusobozi okwetikka n’okukasuka mizayiro eza Nukiriya
eziyitibwa “Nuclear-Capable Ballistic & CruiseMisiles”. Emmeeri yabbuddwa mu muzira wa North Korea Gen. Choe Hyon eyaduumir olutalo lwa North Korea ne South Korea olwaliwo wakati wa June 25, 1950 ne July 27, 1953.Eno y’emmeeri ennwaanyi ey’ekika kino North Korea gy’esoose okukola era ku mukolo ogw’okugitongoza, omukulembeze Kin Jung un yasitudde ne muwala era omwana omu yekka
gw’alina mu bulamu Kim Ju Ae 12 agambibwa nti gw’ateekateeka okumuddira mu bigere.
Ekitongole ky’amawulire ekya Noth Korea ekya Korean Central News Agency (KCNA) kyafulumizza ebifaananyi ng’emmeeri eno egezesebwa ku mwalo ogw’e Nampo mu
bugwanjubwa bwa North Korea.
Yakubye mizayiro bbiri mu bwengul  ne zisooka zitumbiira mu bire ku sipiidi ya kimyanso ng’eno bwe zivaamu omukka n’okwaka omuliro awo Kim Jung un n’amwenya ng’eno bwakuba engalo.
Abakugu mu ggye lya North Korea mu kuweesa emmeeri eno baakoppye tekinologiya wa Amerika, China ne Russia ne bagimalirako amagezi gaabwe gonna. Baagitaddeko
emidumu gy’emizinga ne mizayiro mu buli ludda ne waggulu.
Wabula Amerika ne South Korea zaalumirizza nti abakugu ba Russia be
baayambye North Korea mu kuweesa emmeeri bo gye baagambye nti tebayigudde
ttama kubanga terina kinene kya nnyo kyeyinza kuyamba North Korea singa olutalo lubalukawo.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});