Omulangira w’e Saudi Arabia awezezza emyaka 20 mu ‘coma’
May 03, 2025
EBYEWUUNYISA nga bwe bitaggwa ku nsi, Bukedde egudde ku Mulangira w’e Saudi Arabi amaze emyaka 20 ng’ali ku byuma ebiwanirira obulamu awatali kwenyeenya, kwekyusa wadde okutemya ku liiso naye nga bazadde be bakyalemeddeko, nti osanga Allah anaamujjukira n’adda engulu.

NewVision Reporter
@NewVision
EBYEWUUNYISA nga bwe bitaggwa ku nsi, Bukedde egudde ku Mulangira w’e Saudi Arabi amaze emyaka 20 ng’ali ku byuma ebiwanirira obulamu awatali kwenyeenya, kwekyusa wadde okutemya ku liiso naye nga bazadde be bakyalemeddeko, nti osanga Allah anaamujjukira n’adda engulu.
Omulangira ono gwe baakazaako erya ‘Sleeping Prince’, ekivvuunula nti Omulangira
eyeebase ye Prince Al-Waleed bin Khaled bin Talal kati eyawezezza emyaka 36 egy’obukulu naye nga 20 ku gyo agimaze mu ‘coma’ oba tukuyite okuzirika!
Omulenzi ono azaalibwa mu ffamire y’Abalangira bali abagagga ba binnyonkondo mu Bwakabaka bw’e Saudi Arabia. Okutuuka mu mbeera eno kyaddirira akabenje
k’emmotoka ddekabusa ke yafunira e Bungereza mu 2005 bwe yali yaakaweza emyaka 17.
Al-Waleed, nga mutabani wa billiyoneya Prince Khaled bin Talal, okutuuka okufuna akabenje yali asoma mu ttendekero ly’amagye erimu e Bungereza era kitaawe yasindika ennyonyi ye ey’obwannannyini omwana n’azzibwa okwa boobwe mu
bwangu ddala.
Baamutuusiza mu ddwaalirolya King Abdulaziz Medical City mu kibuga Riyadh (erimu ku gasinga okujjanjaba e Saudi Arabia) ne bamussa ku byuma ebimuwanirira okusigala nga mulamu, ng’okwo kw’abadde okutuusa kati w’osomera bino nga bamuliisiza mu mpiira. Kigambibwa nti mu 2015, bwe yali yaakaweza emyaka 10 mu ddwaaliro lino, abasawo abakugu abamujjanjababaategeeza kitaawe nti essuubi lya Al-Waleed ‘okuzuukuka’ baali tebakyalirabawo ne bawa amagezi nti bandibadde bamuggya ku
byuma, awummulire ddala, ekintu kitaawe kye yagaana n’agamba nti tannabulwa ssente zijjanjaba mwana we n’ekirala nti alowooza
No Comment