Bannamawulire mu Greater Luwero bakuzizza olunaku lwabwe
May 04, 2025
BANNAMAWULIRE mu greater Luweero balaze okutya nti ab'ebyokwerinda bandibawewenyula kibooko n'okusuulibwa ku kabangali nga basaka amawulire mu kulonda okubindabinda nga bwe gwabadde e Kawempe gye buvuddeko.

NewVision Reporter
@NewVision
BANNAMAWULIRE mu greater Luweero balaze okutya nti ab'ebyokwerinda bandibawewenyula kibooko n'okusuulibwa ku kabangali nga basaka amawulire mu kulonda okubindabinda nga bwe gwabadde e Kawempe gye buvuddeko.
Bannamawulire abaavudde e Luweero, Nakaseke ne Nakasongola baasinzidde ku kisaawe kya Nakasongola R,/C P/S mu kukuza olunaku lwabwe ne bategeeza nti ekyatuuka ku bannabwe e Kawempe kyabakuba encukwe era nga emitima gibeewanise mu kulonda kwa 2026.
Ssentebe waabwe Lwanga Musa yagambye nti abaawulire bakola kinene okutegeeza, okumanyisa n'okusomesa abantu ebibeera bigenda mu maaso okusobozesa okulonda kw'amazima n'obwenkanya nga tebandisaanye kutaataganyizibwa nga bakola omulimu guno.
Minisita avunaanyizibwa kunsonga z'abakozi Wilson Muluuli Mukasa eyabadde omugenyi omukulu yagambye nti gavumenti ye yassaawo eddembe lya bannamawulire era nti erina okulikuuma.
Yagambye nti eddembe lya bannamawulire libaako obuvunaanyizibwa nga balina okwewala kyekubiira n'okubuguumiriza nga bakola omulimu gwabwe, obutatemaatema n'okwawula mu mawanga n'ebirala ebiyinza okubaviirako obuzibu.
Bannabyabufuzi n'abantu abaagala okukola effujjo mu kulonda yabalabudde okutta ku bigere nti kuba baatendese abakuumaddembe abagenda okuweebwa ebikozesebwa okulaba ng'okulonda kubeera kwa mirembe.
Bannamawulire baasoose kukumba kwetoloola kibuga Nakasongola oluvannyuma ne basimba emiti ne baddako okwongera okusomesebwa n'okujjukizibwa obuvunaanyizibwa bwabwe.
Related Articles
No Comment