Nabakooba awadde ab’e Mityana essuubi ku masannyalaze n’ettaka

May 04, 2025

MINISITA w’Ebyettaka n’amayumba, Judith Nabakooba alambudde ebitundu eby’enjawulo mu Ssaza ly’e Busujju mu disitulikti y’e Mityana, n’agumya abatuuze ku masannyalaze agaludde nga tegaliiko. Mu ngeri y’emu yalabudde abeeyita bannannyini ttaka ne basengula abantu n’agamba baakukwatibwa.

NewVision Reporter
@NewVision

MINISITA w’Ebyettaka n’amayumba, Judith Nabakooba alambudde ebitundu eby’enjawulo mu Ssaza ly’e Busujju mu disitulikti y’e Mityana, n’agumya abatuuze ku masannyalaze agaludde nga tegaliiko. Mu ngeri y’emu yalabudde abeeyita bannannyini ttaka ne basengula abantu n’agamba baakukwatibwa.
“Njogedde ne minisita w’Ebyamasannyalaze n’ankakasa nti entegeka zonna ziwedde
amasannyalaze gagenda kuzzibwako kubanga buli kyetaagisa kyatuuse dda e Mityana,” bwe yagambye.
Yabadde ayogerako eri abatuuze ku mbuga ya Ggombolola e Butayunja gye yakubye
olukung’aana okuwuliriza ensonga z’abantu naddala abasengulwa ku ttaka.
Ggombolola eno emaze ebbanga erisukka mu myezi ebiri nga terina masannyalaze, oluvannyuma lwa waya okubbibwa ku miti.
Ng’olukung’aana terunnatandika, abatuuze baasoose kumulaajanira olw’embeera
y’amasannyalaze ne bamusaba akolagane n’ebitongole ebivunaanyizibw abayambe.
Samuel Bwaddene, omu ku batuuze abakolera e Kitongo mu Ggombolola y’e Butayunja
yagambye nti abadde akozesa abavubuka abawerako naye kati emyezi ebiri tebakola lwa butaba na masannyalaze.
ENSONGA Z’ETTAKA
Abatuuze baamutegeezezza nti bali ku ttaka eriweza yiika 640 nga bagamba nti lya Charles Ssemindi, kyokka waliwo omusajja Benon Balali agamba nti akola mu maka ga Pulezidenti, eyabagamba nti lirye era alibagobako. Nabakooba yagambye nti tewali
muntu akola mu ofi isi nnene bw’etyo ayinza kweyisa mu ngeri emenya amateeka n’abagumya nti agenda kukolagana n’abakungu mu Ofi isi ya Pulezidenti, omusajja
oyo akwatibwe.
Abatuuze era beemulugunyizza ku ngeri ssente za PDM gye zigabwamu
 e bagamba nti abamu babasosola.
Nabakooba bwe yavudde e Butayunja n’alambula Ggombolola y’e Maanyi ku kyalo Namutunku aali abooluganda mu  amire okuli aba Kezekia Ssenkungu ne Lawulensio Kampi abagugulana. Eno, Kampi agamba nti yagula ekibanja era n’akigula ne mu
ttaka kyokka ng’aba  amire ya Ssenkungu bakiwakanya
nga bagamba nti n’endagaano gy’alaga tet geerekeka. Nabakooba yalagidde Poliisi
okunoonyereza ababadde batulugunya Kampi nga basaawa ebirime bye era ne Kampi
agira abeera ku kibanja kino ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.
Mu Munisipaali y’e Mityana, Nabakooba yatuuseeko mu maka ga Peter Kafuuma ku kyalo Katakala, aludde ng’agobwa ku kibanja kw’akulidde.
Kafuuma, aliko obulemu agamba nti yazaalibwa ku kibanja kino ekyali ekya kitaawe, kyokka waliwo omukazi Leticia Jane Nabisere amugobaganya.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});