Engeri gy’otangira okuboolagana mu baana

May 04, 2025

OKUBOOLAGANA mu baana abakulira awamu kimu ku bintu ebitaataaganya enkulaakulana mu maka, kubanga kivaako n’abaana abamu okwekubagiza oluusi ne balemererwa n’okukola obuvunaanyizibwa bwabwe n’okutuuka ku birooto byabwe.

NewVision Reporter
@NewVision

OKUBOOLAGANA mu baana abakulira awamu kimu ku bintu ebitaataaganya enkulaakulana mu maka, kubanga kivaako n’abaana abamu okwekubagiza oluusi ne balemererwa n’okukola obuvunaanyizibwa bwabwe n’okutuuka ku birooto byabwe.
Ekisinga okwennyamiza okuboolagana kuno oluusi kuleetebwa abazadde olwo ne kireka abaana abamu mu bbanga nga tebamanyi kya kuzzaako.
Fatumah Naigaga, Kansala w’abakyala e Luzira, agamba nti: Okuboolagana mu baana kya bulabe kubanga kireetawo enjawukana mu bo bennyini n’amaka okutwaliza awamu.
l Oluusi abazadde baleetera abaana bano obuzibu naddala nga babasosola olw’embeera z’ebyenfuna. Oluusi weesanga abaana bonna bali mu maka ga jjajjaabwe, kyokka nga bazadde b’abaana bano ababaweerezaayo baawukana mu by’enfuna ne kireetera jjajja okusosola abo ababeera batalina, kino ne kivaako abaana okuboolagana.
Buli omuzadde lw’okizuula nti, abaana bo balinamu okuboolagana, olina okwanguyira embeera eno nga tennasajjuka kubanga oluusi evaako okwetuusaako obulaben’okusaanyaawo oluganda n’enkolagana.
Osobola okuyita abaana n’oyogerako nabo ng’obalaga nga bonna bwebali ababo era n’owa n’abo abatannatereera mu by’enfuna essuubi nti, essaawa yonna ebintu bijja kutereera.
l Waliwo abaana ababoola bannaabwe olw’ekikula kyabwe, okugeza, waliwo abaana abazaalibwa nga baliko obulemu obw’enjawulo nga bano nabo bamanyi okuboolebwa bannaabwe.
Singa omuzadde okizuula nti, abaana b’ozadde balinamenjawulo mu kikula kyabwe, oteekeddwa okufuba omwana oyo okumuzzaamu amaanyi, era omubudeebude asobole okwekkiririzaamu.
Ky’ekimu ky’olina okukola ne ku banne abalala b’abeera nabo, obabuulire nti, oli munnaabwe era naye alina okutwalibwa ng’omwana.
l Ng’omuzadde bw’oba okola kino, olina okukakasa nti, abaana bano obagattira wamu okugeza mu by’okukozesa awaka, okulya n’okuzannya. Kino kyongera okubagatta n’okumalawookuboolagana.
l Omuzadde yenna okumalawo embeera ezireeta enjawukana mu baana, osaana okimanye nti, bonna babeera baana bo nga kikukakatako okuteekawo embeera ebagatta, era weewale byonna ebiyinza okuvaako okuboolagana.
l Kyokka abaana nabo balina okumanya nti, babeera ba musaayi gumu nga ne bwekiba ki tegugenda kukyuka. Kino kitegeeza nti, balina okukolera awamu kubanga kijja kubayamba okwekulaakulanya naddala ng’abasoose okufuna bayamba ku batannafuna.
l Abaana balina okuwahhana ekitiibwa kuba kino kikuuma omukwano wakati waabwe n’okutangira okuboolagana. 

Okuboolagana kulemesa enkulaakulana

Jovaline Tumuhirwe, omutuuze w’e Kitintale zooni 12 : Eky’abaana okuboolagana kibi era kibalemesa n’okutuuka amangu ku nkulaakulana, anti buli omu bw’abaako ne ky’ayagala okutandika ate ng’omulala amulwanyisa olw’okuba nga tebakwatagana era gye biggweera ng’amulemesezza.
Mu mbeera eno, kikakata ku buli muzadde okukyayisa abaana omuze gw’obusosoze nga babateerawo embeera ebasobozesa okukwatagana ng’okubakoleranga obubaga kwe bayinza okwesisinkanira mu ssanyu. 

Enjawukana mu baana zitandikira ku bazadde

Sheikh Mahamoud Ssekimwanyi, omusomesa w’Obusiraamu :
Enjawukana ez’engeri yonna mu maka zitandikira waggulu ku bazadde era nga bano be bavunaanyizibwa ku kuzigonjoola singa zibeera ziguddewo kubanga be bakulembeze ba famire.
Omuzadde bw’akizuula nti, mu baana be, waliwo abamu abatakwatagana bulungi, bubeera buvunaanyizibwa bwe okubatuuza n’ababuulira nga bwe bali abooluganda era n’abalaamira okubeera obumu n’amakulu gaakyo.
Omuzadde alina okulaba ng’abuulirira abaana n’okubasomesa eddiini, kubanga eddiini eno efuga ebintu ebisinga, omwana yenna singa asoma eddiini kyongera okubateekamu ensa n’abo abandibaddemu emize egiboola bannaabwe weesanga bagirese.
Kyokka era waliwo n’abazadde abamu abateekawo enjawukanamu baana nga balaga obutali bwenkanya. Omuzadde omwenkanya y’oyo afuba okulaba ng’abaana be abawa ebintu mu kyenkanyi, okugeza singa abeerako n’ekintu ky’agula tekibeera kya bwenkanya abamu obutabagulira. Singa ekyo omuzadde akikola ajja kuba agobye okuboolagana mu baana.
Kyokka era singa omuzadde okizuula nti, mu baana bo waliwo asiga obukyayi mu banne kibeera kya bugunjufu, omuzadde okutuula n’omwana ono n’omubuulira akabi akayinza okuva mu nneeyisaembi eri banne.
Muhammad Muwanika, Kansala wa Mutungo IV : Omuze gw’okuboolana mu baana gucaase ensangi zino naddala mu baana abaawula abazadde okuli maama oba taata.
Oluusi abaana bano balemwa okwagalana olw’abazadde okwesuulirayo ogwannaggamba ku buvunaanyizibwa bwabwe. Omuzadde buli lw’awa abaana be obudde obutono kitegeeza nti, tajja na kumanya bibasoomooza. 

 

Omuzadde ovunaanyizibwa okulung’amya abaana bo  

Paasita Godfrey Butaayi, omusumba ku kkanisa ya Cornastone Christian Fellowship e Bukasa-Muyenga era nga muzadde : Enjawukana mu baana za bulabe eri famire era singa tezanguyirwa zisobola ate okuvaamu obulabe obw’amaanyi gyebali.
Katonda yakola famire ng’erina kutambulira ku mwami, omukyala n’abaana era singa ettabi erimu ku gano likutukako kitegeeza nti, famire ebeera eyonoonese.
Bayibuli egamba nti, “Ababiri tebasobola kutambulira wamu okuggyako nga balina okutabagana”, nga kino kitegeeza nti, singa wabeerawo abatakwataganye wakati awo obuzibu bubeera buzze.
Bayibuli era y’emu egamba nti, “Omwami gwe mutwe gw’amaka naye ate omutwe gw’omwami ye Katonda’’. Noolwekyo, tusaana tuddeyo tuwuliziganye n’Omutonzi waffe bwe tuba tunaamalawo enjawukna ez’engeri yonna, buli lwe tuva ku Katonda nga n’okubula tubula.
Abazadde basaana okukimanya nti, be basookerwako era empisa z’abazadde z’empisa z’eggwanga.
Singa omuzadde okimanya nti, abaana bo balinamu obutakkaanya mu ngeri yonna, kikukakatako okutuula nabo obaluhhamye ku kigambo ekikwata ku mutima olwo ne Katonda akozese ggwe okukyusa embeera mu baana bo.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});