Paapa Francis alese omukululo ogw’omujulizi ow’amazima

May 04, 2025

OLWO mulimanya amazima, era amazima galibafuula ab’eddembe” (Yoanna 8:32)Paapa Francis atulekedde omukululo ogw’omujulizi ow’amazima kayingo, mu buufu bwa Mukama we Yezu Kristu. Kino kyamusobozesa okununula abantu mu mikono gy’abakozesa obubi obukulembeze obwabakwasibwa.

NewVision Reporter
@NewVision

OLWO mulimanya amazima, era amazima galibafuula ab’eddembe” (Yoanna 8:32)
Paapa Francis atulekedde omukululo ogw’omujulizi ow’amazima kayingo, mu buufu bwa Mukama we Yezu Kristu. Kino kyamusobozesa okununula abantu mu mikono gy’abakozesa obubi obukulembeze obwabakwasibwa.
Kinajjukirwa nti Yezu yeeyitanga Amazima. Bwe yali mu mbuga ya Pilato, ng’awaayiriziddwa abakulembeze b’eddiini ye, yaganyweererako n’agafiirira. Obuwanguzi obw’amazima bweyolekera mu kuzuukira. Amazima ga maanyi, kubanga tegakyukakyuka.
Mu bbaluwa ye “Essanyu erifungamye mu mazima” (Veritatis Gaudium), Paapa Francis agamba nti amazima ssi kirowoozo bulowoozo abantu kye bayinza okukubaganyaako obukubaganya ebirowoozo, wabula ye Kristu yennyini. Awo natukubiriza okugalangiriranga n’essanyu, nga tetweganya.
Era Paapa agamba amazima tegafugibwa ddiini n’emu; ga bonna. Akubiriza abantu kinnoomu, bannadiini, bannabyabufuzi, ab’ebyempuliziganya okuwagiranga amazima agataliimu bukuusa, nga beewalira ddala okugatabiikiriza n’obulimba.
Ekyewuunyisa kwe kuba nti Paapa yafa ku luddiirira Amazuukira, ng’abakkiriza beebuulirira ku mazima agaali galangirirwa abakazi abaasooka okumanya amazuukira ga Kristu, ate n’abaserikale bo abaali balangirira nti Yezu teyazuukide wabula abatume be babbye omulambo gwe! Abaalangirira amazima bo beesigama ku kukkiriza Katonda kwe yabawa, ate abaalangirira obulimba baali bavujjiriddwa ne ssente, ezaabaweebwa bakama baabwe.
Yezu akyogera kaati nti ssente ssi ye kazaala bulwa, wabula amaddu gaazo ye kanaaluzaala (Luke 16:13-15). Tuli mu nsi eyasalawo okutambulira mu bulimba wakati mu kwagala ssente. Tusaanye okumanya nti obugagga obw’ensi buggwaawo naye amazima tegafa. Awonno, bwe tuyimba “Alleluiya” ku Pasika, sso nga tusigadde tuvuyiza mu kulya enguzi, tuba ng’abangoola Kristu. Paapa Francis abadde akubiriza Abakristu okwesamba omuze ogwo, amazima gasobole okutununula.
Okukkiriza obulimba kuzikiriza omwoyo gw’omuntu. Atuuka okwekazaakaza, ng’ayongera bulimba. Kino kizing’amizza obukulembeze obwesimbu ne demokulasiya; kizadde obusambattuko, obwavu, okusiiwuuka empisa, n’emirerembe emirala. Okulimba kutaagukataagula enkolagana mu bantu.
Mu mbeera z’abantu, tewali afiirira bulimba, ng’abwekakasa. Kyokka abatume baafiirira amazima nti Yezu yazuukira, kubanga baamulaba, ne bamukwatako, ne balya naye, ng’azuukidde.
Paapa Francis abadde Katikkiro wa Kristu ate omusika wa Petero owannamaddala. Atuukirizza Yezu bye yayogerera ku Petero nti lwe lwazi kwalizimbira Ekleziya we, era ne Sitaani talimulinnya ku nfeete (Matayo 16:18). Kale nno, twagaliza era tusabira Paapa Francis ebigambo bya Kritsu bino bituukirire: “Webale omuweereza wange omwesigwa. Obadde mwesigwa mu bitono, nja kukukwaasa ebingi. Kale, yingira mu ssanyu lya Mukama wo” (Matayo 25:23).

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});