Ebintu 5 by’olina okussaako essira ng’otandika bizinensi y’okufuba emmere

May 04, 2025

BIZINENSI y’okufumba emmere etandikibwako naddala obudde obw’akawungeezi yeemu ku zikola ssente naddala mu buguga obw’enjawulo obubeeramu abantu abangi.

NewVision Reporter
@NewVision

BIZINENSI y’okufumba emmere etandikibwako naddala obudde obw’akawungeezi yeemu ku zikola ssente naddala mu buguga obw’enjawulo obubeeramu abantu abangi.
Bizinensi eno ab’edda gye baakazaako era ‘tonninnyira’ egenze yeeyubula era nga kati abakola omulimu guno bafumba emmere ey’omulembe ddala eyettanirwa bakasitoma ab’enjawulo.
Sauda Tendo, omutuuze w’e Kamwokya era nga bizinensi eno agikoledde ebbanga lya myaka 14 agamba: Ng’onooyingira bizinensi eno, olina okubaako bye weetegereza n’osobola okugifunamu obulungi. Mu byo kuliko;
1 Okuba ng’omanyi okufumba: Emmere gye tusinga kufumba kuliko akatogo k’amatooke nga tutabuddemu ebinyeebwa, ebyenda oluusi ne tufumbirako ennyama. Okwo kwe tugatta ebintu ebirala ng’enva endiirwa, obuugi, caayi, oluusi n’ennyama okusobola okwongera obuwoomi mu mmere yaffe. Kati okuyingira omulimu guno olina okuba ng’ebyo omanyi okubifumba obulungi. Essowaani y’emmere egula wa 2,000/- ne 3,000/-.
2 Okuba omumalirivu: Bw’oyingira omulimu guno nga teweenywezezza oyinza okugudduka. Osobola okufumba emmere n’ediba era n’ogigaba, kubanga jjukira ffe omulimu gwaffe tugukola budde bwa kawungeezi. Kati emmere bw’ediba oba toyinza kugitunda kawungeezi ka nkeera okuggyako okugigaba. Wano olina okuba omunywevu nti embeera eno ne bw’etuukawo n’enkeera osobola okudda.
3 Olina okufuna ekifo ekituufu we bataakutaataganye: Bizinensi eno osobola okugikolera awantu wonna awali abantu abangi naye olina okwegendereza ab’obuyinza okukutaataaganya. Ebifo ebyandibadde bisinga okuba ebirungi byebyo eby’olukale gamba ng’akatale.
4 Teweetaaga ssente nnyingi okutandika: Bizinensi eno ne bw’oba ne 50,000/- ogitandika. Weetaaga kugula ssepiki nga ssatu mu bunene bwe weetaaga, okugula emyera gy’amatooke gy’osobodde, sigiri, amanda n’amasowaani, ebinyeebwa oba endyenda n’ebirungo ebitandikibwako ng’omunnyo ng’oyingira bizinensi ng’otandika okunoonya bakasitoma.
5 Okwongerako ebintu eby’enjawulo ebikuuma bakasitoma kikulu: Engeri gye tukola obudde obw’akawungeezi, okufumba ebintu nga caayi n’obuugi kikulu. Kasitoma bw’ajja, buli ky’akusaba olina okuba nakyo aleme kukigula ku balala kubanga enkeera ayinza obutadda wuwo. Ebintu ebyo bikuyambako n’okwongera okufuna ssente ezikuyambako n’okusasula omukozi

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});