OKULONDA PAAPA;Omudumu ogunaafulumya omukka guwedde
May 05, 2025
AKEETALO k’okulonda Paapa omuggya keeyongedde ku kitebe ky’Obukatolikimu nsi yonna e Vatican ng’Abalangira b’Eklezia 133 beetegekera okwesoggaolusirika ‘Coclave’ ku Lwokusatu.

NewVision Reporter
@NewVision
AKEETALO k’okulonda Paapa omuggya keeyongedde ku kitebe ky’Obukatoliki
mu nsi yonna e Vatican ng’Abalangira b’Eklezia 133 beetegekera okwesogga
olusirika ‘Coclave’ ku Lwokusatu.
Bayinginya abaakuguka mu by’okuzimba baalinnye waggulu
ku kasolya k’e Klezia eya Sistine Chapel ne bawanika n’obwegendereza omudumu ogufulumya omukka ensi yonna kweneesobola okutegeerera okulondebwa kwa Paapa agenda okudda mu bigere bya PaapaFrancis eyafudde nga April 28 2025 ku Easter Monday.
Omuddumu guno gwe guvaamu omukka omweru okulaga ensi yonna nti Paapa
omupya alondeddwa oba omukka omuddugavu okulaga ensi nti mu ‘Conclave’ zikyali
nkalu, Abalangira b’ Eklezia (Ba Kalidinaali) tebannakkaanya ku
muntu agenda kulya Bwapaapa Bayinginiya mukaaga baatandise ku Lwokutaano okuteekateeka omudumu okuviira ddala wansi mu Sistine hapel ne gwambuka waggulu
mu kasolya ak’amategula amaddugavu. Mu kiseera kino Sistine
Chapel yaggaddwa eri abalambuzi ng’eri mu kuyooyootebwa n’okuteekebwateekebwa okutuuka ku Lwokusatu ba Kalidinaali lwe banaagiyingira beggaliremu okutuusa lwe baneerondamu omuntu omu agenda okufuuka Paapa. Ku Lwokusatu nga tebannayingira ‘Conclave’, ba Kalidinaali bagenda kusooka mu mmisa ey’okweteekateeka basoboleokulung’amizibwa Mwoyo Mutuukirivu okulonda omuntu omutuufu ku bwapaapa.
No Comment