Omubaka Sebamala akalambidde ku kya Pulezidenti wa DP

May 07, 2025

OMU kubegwanyiza ekya ssenkaggale wa DP omubaka  wa Bukoto Central Richard Sebamala agambye takiriziganya nakyakudiimuula bisale eri abo abegwanyiza ebifo mu kakiiko akafuzi akatwala ekibiina kya DP.

NewVision Reporter
@NewVision

OMU kubegwanyiza ekya ssenkaggale wa DP omubaka  wa Bukoto Central Richard Sebamala agambye takiriziganya nakyakudiimuula bisale eri abo abegwanyiza ebifo mu kakiiko akafuzi akatwala ekibiina kya DP.

Wiiki ewedde, Sebamala y’omu kubaggyayo empapula okuvuganya ku kya pulezidenti wa DP nga ono ayagla kusigukula Nobert Mao gwagamba nti tajja mukiriza kusanyawo kibiina nga atunnula.

Mu lukungaana lwa bannamawulire lwatuuzizza ku palamenti, Sebamala agambye nti abaagala okwesimbawo ku pulezidenti basabiddwa obukadde 10, ba ssentebe  n’abamyuka obukadde 5 n'agamba nti kyewuunyisa abakulembeze okweyagaliza okutuuka ku kino nga balemesa balala.

Agambye nti okuva weyalaga okwegwanyiza ekifo, buli olukya ekibiina kifulumya ebisanyizo ebipya era nga bamulumiriza okuba nga ekibiina tanakimalamu myaka 10 nti n’olwekyo tasanidde.

Avumiridde akakiiko akalira okulonda kagambye nti abaliko ate bebamu kubesimbyewo ku bifo eby’enjawulo.

            “Bwebaba baagala kulwana byabufuzi nange eby’obufuzi mbisobola, bibaamu okuvuma, okulwana ate bwegaba mateeka nago ngasobola kati zaabike.” Sebamala bwategeezezza

Sebamala ayagala embalirira z’ensimbi zebasabye abasimbyewo nti kubanga obwedda vulugu ajudde nga abamu babawa ssente ezimaze okuweebwawo abalala ate okuzireeta okwesimbawo

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});