Emitendera gy’okulonda Paapa
May 07, 2025
OBUNKENKE obwetabiddwaamu essanyu ly’okwesunga okulondebwa kwa Paapa omuggya kubuutikidde Vatican n’ebitundu ebiriraanyeewo.

NewVision Reporter
@NewVision
OBUNKENKE obwetabiddwaamu essanyu ly’okwesunga okulondebwa kwa Paapa omuggya kubuutikidde Vatican n’ebitundu ebiriraanyeewo.
u ngeri y’emu obukadden’obukadde Obwabakatoliki n’abatali bonna amatu n’amaaso bagoolekezza Vatican nga bagezaako okugobeerera ebiva mu Conclave, Bakalidinaali 133 gye begenda okwevumba olwaleero okulonda Paapa omuggya. Enteekateeka eyassiddwaawo erambika emitendera egigenda okuyitibwamu nga Bakalidinaali
bayingira Conclave okutuusa lwe banaagifuluma nga bamaze okulonda Paapa omuggya era ng’eri bweti:
Nga May 7, (olwaleero) Bakalidinaali 133 abatannaweza myaka 80 bayingira olusirika nga lwakutuula mu Klezia ya Sistine Chapel.
Wajja kubeerawo okusaba n’okwegayirira Katonda awe Eklezia Paapa gw’anaaba agisiimidde.
Olusirika luno lulina amateeka ge lugoberera nga lulung’amizibwa ebitabo bibiri omuli eky’amateeka n’ekyessaala.
Ekitabo ky’amateeka ekiyitibwa ‘Universi Dominici Gregis’ mu Lulatini oluusi kye bayita Omusumba ow’endiga z’Omukama zonna, kyateekebwawo ku mulembe gw’Omutuukirivu Paapa John Paul II mu 1996 ne kikolebwamu enkyukakyuka entonotono ku mulembe gwa Paapa Benedict XVI mu 2007 ne mu 2013.
Ate ekitabo eky’essaala ekiyitibwa ‘Ordo Rituum Conclavis’
mu Lulatini, oluusi ekiyitibwa rites of Conclave, kyayisibwa Omutuukirivu
Paapa John Paul II mu 1998, kyokka ne kifulumizibwa n’okutandika okugobererwa
ng’afudde mu 2005.
Ekitabo kino ekirimu essaala z’Olulatin nga zivvuunuddwa ne mu Luyitale kitandika nga kiraga nti okulondebwa kwa Paapa kwetegekerwa era ne kukolebwa wakati mu nkola z’eddiini y’Obukatoliki n’okusaba essaala buli kiseera nga basaba Mwoyo mutuukirivu abalung’amye.
Okusinziira ku kitabo ky’essaala, emitendera gy’okulonda Paapa gitandika n’e
Mmisa ekkirizibwamu abantu bonna ey’okutandika ku ssaawa 4:00 ez’okumakya, nga mu za wano ziba 5:00 ez’oku makya mu Lutikko enkulu eya St. Peter’s Basilica. Diini wa Bakalidinaali Giovanni Battista Re, y’agenda okukulembera Mmisa eno.
Mu Mmisa eno, Kalidinaali Battista Re alina okutandika n’essaala egamba nti: “Ai Omukama, Omusumba ow’olubeerera, ggwe akulembera abantu bo mu bwa Patri, wa Eklezia wo Paapa gw’okkirizza era omutukuze okuweereza bantu bo.”
Mmisa eno gwe mutendera gwokka abantu baabulijjo mwe bakkirizibwa okwetaba mu
mitendera gy’okulonda Paapa, ng’egiddako gibeeramu Bakalidinaali bokka okutuusa Paapa omuggya lw’alangirirwa. Oluvannyuma lwa Mmisa eno,
ekitabo ky’amateeka kiragira nti akawungeezi Bakalidinaali abakkirizibwa okwetaba mu kulonda bakung’aana mu Klezia ya Pauline Chapel oluvannyuma ne beeyongerayo mu ya Sistine Chapel ewabeera olusirika olukulu era mwe balondera.
Oluvannyuma Kalidinaali abeera alondeddwa mu abo abanaalonda ayogerako eri banne
ng’abalung’amya ku mateeka n’essaala ebinaagoberwa oluvannyuma ne batandika olusirika olw’okulonda Paapa omuggya.
Bakalidinaali bazzaako okukuba ekirayiro ekya ssekinnoomu nga basuubiza okugoberera n’okugondera amateeka ag’okulonda Paapa.
Buli omu alayira nti ssinga alondebwa ku Bwapaapa nti ajja kukola obuweereza bwOmusumba omukulu owa Klezia Katolika n’okukuuma enzikiriza, n’obulombolombo bw’enzikiriza n’eddembe ly’ensi entukuvu eya Vatican. Bakalidinaali era bakuba ekirayiro eky’okukuuma ebibeera mu kulonda kuno nga bya kyama. Kalidinaali asembayo bw’amal okukuba ebirayiro, abaweereza bonna abatali Bakalidinaali
balagirwa okufuluma Sistine Chapel ne musigalamu abo bokka abagenda okulonda.
Kalidinaali Raniero Cantalamessa (90) atakyakkirizibwa kulonda ye yalondeddwa olukiiko lwa Bakalidinaali okubakulemberamu mu kaseera akabeera kaddako ak’okwebuulirira ku bukulu bwa Bakalidinaali nga batudde okulonda Paapa yenna Katonda gw’anaaba alonze era naye olunaamaliriza ng’afuluma.
Ekiddako be Kalidinaali kusalawo oba akalulu akasooka bakasuule mu kawungeezi ako kennyini ng’olumala okukakuba ng’obululu babwokya n’ekirungo ekimu ne buvaamu omukka omuddugavu ogufulumira mu mudumu gwa Klezia ya Sistine Chapel.
Oluvannyuma lw’akalulu akasooka, Bakalidinaali bakuba akalulu buli kumakya, n’obululu bwa mirundi ebiri mu ttuntu okutuusa kandideeti asinze lw’afuna obululu ebitundu bibiri byakusatu.
Singa batuuka ku lunaku olwokuna nga tebannafuna Paapa, Bakalidinaali bayimiriza ebyokulonda ne basooka baddako mu ssaala nga bongereza ku za buli kumakya n’olweggulo Okulonda bwe kuddamu, ne wabaawo Kalidinaali afuna obululu bwa bitundu bibiri byakusatu (okugeza, oyo anaaba awezezza obululu 89 ku Bakalidinaali 133 abanaalonda) abuuzibwa ebibuuzo bino wammanga:
Akkiriza okulondebwa kwo okubeera Omusumba ow’oku ntikko owa Klezia Katolika?,
n’ekirala abuuzibwa erinnya ly’Obwapaapa ly’anaakozesa.
Bw’akkiriza obuvunaanyizibwa buno, Kalidinaali ono afuukirawo Omusumba wa Klezia ya Roma, Paapa w’Obukatoliki era akulira Abasumba bonna; Ayambala obuyinza obusukkulumu mu Klezia Katolika mu nsi yonna.
Oluvannyuma obululu bwonna obukubiddwa, empapula Bakalidinaali kwe baba babalidde obululu na buli kawandiiko bikwatibwa ne byokyebwa mu kyoto ky’omunda mu Klezia eno nga ziteekeddwaamu ekirungo ekiyambako okufulumya omukka omweru ogukola ng’amawulire ag’essanyu eri ensi yonna nti Paapa alondeddwa. Bakalidinaali beeyama obuwulize eri Paapa omuggya ne bayimba oluyimba lwa “Te Deum” olutegeeza nti Weebale nnyo Katonda. Oluvannyuma Kalidinaali abeera alondeddwa banne okutegeeza ensi nti Paapa alondeddwa (ku mulundi guno nga ye Mufalansa, Kalidinaali Dominique Mamberti), waakugenda mu ddirisa ekkulu eriri waggulu ku
Klezia ya St. Peter’s Basilica alangirire eri ensi yonna nti ‘Habemus papam’, ekivvuunula nti “Tulina Paapa”.
No Comment