Enguudo za Wakiso zitandise okukolebwa

May 07, 2025

DISITULIKITI y’e Wakiso ekwasizza bakontulakita enguudo bbiri ze batandikiddewo okukola kw’ezo eziri mu nteekateeka y’okuyiibwa kkolaasi mu nkola ya GreaterKampala Metropolitan Area. Enguudo zino kuliko; Bukasa- Sentema- Kakiri oluliko kiromita 12.17 nga lwateereddwaako obuwumbi 56 n’olwa Kisozi - Kitemu- Naggalabi olwa 6.5 nga lwa buwumbi 35.

NewVision Reporter
@NewVision

DISITULIKITI y’e Wakiso ekwasizza bakontulakita enguudo bbiri ze batandikiddewo okukola kw’ezo eziri mu nteekateeka y’okuyiibwa kkolaasi mu nkola ya Greater
Kampala Metropolitan Area. Enguudo zino kuliko; Bukasa- Sentema- Kakiri oluliko kiromita 12.17 nga lwateereddwaako obuwumbi 56 n’olwa Kisozi - Kitemu- Naggalabi olwa 6.5 nga lwa buwumbi 35.
Minisita omubeezi owa Kampala n’emiriraano, Kabuye Kyofatogabye ye yakwasizza kkampuni z’Abachina bbiri enguudo okuli eya China International Construction
Company n’eya China Railway  Seventh Group n’aziwa omwaka
gumu n’ekitundu okumaliriza omulimu.
Kyofatogabye yagambye nti enguudo zino si ze zokka ezigenda okukolebwa mu Wakiso,
kyokka zino ze basoose kuba zigatta enguudo eziwera okuli olwa Masaka, Mityana, Hoima ne Ntebe nga kyakundeeza ku kalippagano k’ebidduka.
“Twaweebwa obuwumbi 400 ziyambeko okuyiwa enguudo z’omu Wakiso kkolaasi. Endala tutunuulidde Nansana - Wamala - Katooke, Mende - Senge - Kawanda n’endala,” Kyofatogabye bwe yayongeddeko.
Yalabudde bakontulakita okutambulira ku bye bassa mu ndagaano ate bakole nga tebataddeemu bwa ssemugayaavu kuba Gavumenti ssente zonna ezikola omulimu yazitaddewo.RDC wa Wakiso, Justine Mbabazi yalagidde bakontulakita okuwa abantu enguudo zino gye ziyita emirimu egisoboka n’agamba nti agenda kukigoberera nnyo.
Mbabazi yalabudde bannansi  abannaweebwa emirimu obuteenyigira mu kubba  bikozesebwa, kuba bajja kusibwa ate teri ajja kubaggya mu kkomera. Yeebazizza Pulezidenti Museveni olw’okufa ku Wakiso kuba y’emu ku disitulikiti ezisingamu
enguudo embi. Akulira emirimu mu Wakiso, Alfred Malinga yalabudde bakontulakita obutakola gadibe ngalye, olw’okuba Gavumenti yabawadde ssente, wabula
bakole enguudo ezinaawangaala nga zigasa abantu b’omu kitundu n’eggwanga lyonna.
 inginiya wa disitulikiti y’e Wakiso, Geoffrey Ndiwalana yategeezezza nti enguudo zino
zaakukolebwa nga ngazi bulungi, okutekebwako amataala amalungi, obupande obulagirira obulungi abagoba b’ebidduka, ekifo ab’ebigere we bayita, n’ekifo abantu we basalira

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});