Abaasimattuse akabenje ka bbaasi ku lw’e Wantoni - Katosi balojja

May 07, 2025

ASIMATTUSE akabenje akaagudde ku kyalo Makindu mu Ggombolola y’e Najja ku luguudo Wantoni–Katosi Nyenga bakya-lojja.Akabenje kaaguddewo ku Mmande, bbaasi ya kkampuni ya YY Coaches nnamba UAV 701C bwe yagudde mu luguudo wakati n’ekwata omuliro n’etuntumuka, okukkakkana ng’abantu basatu bafiiriddemu n’abalala ne basimat-tuka n’ebisago eby’amaanyi.

NewVision Reporter
@NewVision

ASIMATTUSE akabenje akaagudde ku kyalo Makindu mu Ggombolola y’e Najja ku luguudo Wantoni–Katosi Nyenga bakya-lojja.Akabenje kaaguddewo ku Mmande, bbaasi ya kkampuni ya YY Coaches nnamba UAV 701C bwe yagudde mu luguudo wakati n’ekwata omuliro n’etuntumuka, okukkakkana ng’abantu basatu bafiiriddemu n’abalala ne basimat-tuka n’ebisago eby’amaanyi.

Omu ku baasimattuse, Jo-seph Mutyaba ow’e Ziroobwe, eyasangiddwa mu ddwaaliro e Kawolo agamba nti ajjukira okulwana ng’afuluma bbaasi, n’alaba n’abantu nga bamuyamba ng’avaamu omusaayi mungi. Yagambye nti yabadde agenda Iganga kuzimba.

Ate Mary Nanzala ow’e Banda yagambye nti okusimattuka aka-benje kyabadde kisa kya Mukama kuba yagezezzaako okuva mu bbaasi naye nga tasobola kuba ekiwato kyabadde kifunye ebisago nga tasobola kuyimirira okutuusa abadduukirize bwe baagudde mu bbaasi ne bamuggyayo ne bamut-wala mu ddwaaliro e Kawolo.

Omwogezi wa poliisi mu ki-tundu kya Ssezibwa, Helen Butoto yagambye nti abantu basatu be baakakasiddwa okufiira mu kabenje kano okuli ne ssentebe w’akakiiko akagaba emirimu mu disitulikiti y’e Manafwa, James Musimbi.

William Lubega, omu ku badduukirize yategeezezza nti, Musimbi bbaasi yamugwiridde n’awanjaga bamuyambe era ne bagezaako okumusika naye ne balemererwa okutuusa bwe yabagambye bamuleke bataaseabalala.

Lubega yagambye nti bbaasi yabadde eva Kampala, owaboda-boda n’asala, ddereeva wa bbaasi mu kugezaako okumutaasa bbaasi n’emulemerera n’egwa mu luguudo wakati.“Abatuuze baayanguye okujja okutaasa era abaafunye ebi-sago ne batwalibwa mu mal-waliro e Nyenga n’e Makindu.

Wakati mu kutaasa abantu omuliro gwatandise okwaka era basatu ne baggyiiramu.” Butoto yagambye nti abantubonna abaalumiziddwa baatwaa-liddwa mu malwaliro okuli; St. Charles Lwanga Buikwe ng’eno baatutteyo 15, Makindu Health Center II e Najja baatutteyo 20, sso nga mu lya St. Francis Ny-enga baatutteyo abantu abaalu-miziddwa 18.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});