Sylvia Mukisa afulumizza alubaamu n’ategeka n’ekivvulu
May 07, 2025
SYLVIA Mukisa, omuyimbi w’ennyimba za gosipo, awanze ggiya. Alina alubaamu y’ennyimba z’eddiini gy’atuumye ‘ I am Blessed’ ekivvuunulwa nti ‘Ndi wa Mukisa’ era waakulaga abawagizi be nti wa mukisa mu kivvulu ky’ategese ku Ssande.

NewVision Reporter
@NewVision
SYLVIA Mukisa, omuyimbi w’ennyimba za gosipo, awanze ggiya. Alina alubaamu y’ennyimba z’eddiini gy’atuumye ‘ I am Blessed’ ekivvuunulwa nti ‘Ndi wa Mukisa’ era waakulaga abawagizi be nti wa mukisa mu kivvulu ky’ategese ku Ssande.
Ku alubaamu eno kuliko ennyimba okuli; Nnina ensonga ennene, Gwe nneesiga amalako, Ssuubi lyange n’endala era asuubizza okuyimba ennyimba zino zonna zinyumire abantu ku Liquid Lush Restaurant e Mpererwe e Gayaza ku Ssande.
Awerekeddwaako abayimbi n'Abasumba abanene okuva mu kisaawe ky’abayimbi ba gosipo. Mukisa, mukyala mufumbo bw’amazeemu emyaka 10 era alina abaana 3
No Comment