Poliisi ya kira Road eyodde 25 mu kikwekweeto
May 14, 2025
POLIISI ya Kira Road ekoze ekikwekweeto mwekwatidde abateberezebwa okubeera abamenyi bámateeka 25 ne baggalira mukaweefube w'ókutebenkeza ebitundu

NewVision Reporter
@NewVision
POLIISI ya Kira Road ekoze ekikwekweeto mwekwatidde abateberezebwa okubeera abamenyi bámateeka 25 ne baggalira mukaweefube w'ókutebenkeza ebitundu.
Ekikwekweto kino ekyabaddewo ku Lwokubiri ekiro kyayindidde mu bitundu okuli Kamwokya, , Kyanja ne Mulimira zooni nga kyakulembeddwamu omuduumuzi wa poliisi ya Kira Road Tyson Rutambika oluvanyuma lwókukizuula nga abamenyi b;amateeka bwebazeemu okukunganira mu bifo ebyóbulabe.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala némirirwano Luke Owoyesigyire yagambye nti ekikwekweeto kino kyagendereddwamu okukwata abagambibwa okwenyigira mu bumenyi bwámateeka mu bitundu ebyenjawulo oluvanyuma lwókukizuula nti abamu kubakwatibwa nebatalibwa mu makomera agenjawulo bayimbiddwa nebaddamu okwenyigira mu bikolwa ebimenya amateeka.
Yagambye nti mu kikwekweeto kino abaserikale babefesse ebifo ebimanyiddwa nti abamenyi bámateeka gyebekukuma nókukunganira nga abamu bakomoonterayo enjaga saako nókutekateega ekwe zókubba anantu nadala nga babateega mu makubo mu budde obwékiro.
Yategezezza nti ebikwekweeto bikyagenda mu maaso mu kitundu kya Kampala némirirwano okulaba nga obumenyi bwámateeka bukendezebwa saako nókulwanyisa obubinja bw'ababbi obubadde buzeemu okutigomya abantu.
Related Articles
No Comment