Abantu boogedde ebyamagero Msgr. Magembe by’abakoledde ne bamutendereza
May 14, 2025
‘AMASITAANI YAGAKUTULA’‘Nze Jane Nazziwa okuva e Masaka. Ebizibu byali bimmalawo. Nnalumizibwanga omubiri gwonna nga nsiiba n’okusula nga neetakula. Amasitaani gankwatanga ne ntaamuuka era ng’abaawaka bansiba ku njegere okusobola okuba mu kifo ekimu. Mu 2018, nagenda e Bukalango ewa Msgr. Magembe n’ansabira. Mu bbanga ttono nnali mmaze okuwona kyokka n’asigala ng’ansabira n’okundagira okusigala mu ssaala. Kati emyaka 7 nawonera ddala’.

NewVision Reporter
@NewVision
‘AMASITAANI YAGAKUTULA’
‘Nze Jane Nazziwa okuva e Masaka. Ebizibu byali bimmalawo. Nnalumizibwanga omubiri gwonna nga nsiiba n’okusula nga neetakula. Amasitaani gankwatanga ne ntaamuuka era ng’abaawaka bansiba ku njegere okusobola okuba mu kifo ekimu. Mu 2018, nagenda e Bukalango ewa Msgr. Magembe n’ansabira. Mu bbanga ttono nnali mmaze okuwona kyokka n’asigala ng’ansabira n’okundagira okusigala mu ssaala. Kati emyaka 7 nawonera ddala’.
‘TWAFUNA OMWANA
Nze Stella Nakimera okuva e Nansana; Muganda wange yafuna obufumbo obutukuvu kyokka omwana n’abula. Twagenda e Bukalango Msgr. Magembe atusabireko era twamusisinkana mu ssaala ez’amaanyi ezibaawo buli nkomerero ya mwezi eziyitibwa Ssangaalo. Yasumulula essaala naffe ne tutandika okukoowoola Mukama era mu bbanga ttono ng’omwana eyali abuze mu bufumbo alabise”.
‘ESSAALA ABAANA KWE BASOMEDDE’
Nze Esther Ayebare okuva Hoima, era wano e Bukalango mbadde nzijawo okumala emyaka 25. Nnasooka kugenda mu kusaba kwa bulijjo ngenda okulaba ng’obulamu bwange bukyuka. Ssiri mugagga naye essaala ya Magembe Mukama mw’ayise okumpa obusobozi okusomesa abaana ate nga nabazaala ndi eno. Babiri bagenda kumaliriza Yunivasite nga basoma busawo”.
WEEREDDE OMWANA WANGE OKUVA P.4 OKUTUUKA S.6’
Nze Eva Nassuuna okuva e Kiteredde mu Kakiri. Nze omu ku bangi ababadde bagenda okusinza e Bukalango, Magembe okutusabira kyokka n’okusaba ku buyambi. Ku myaka 20 gye nnakamalayo, nagenda kusaba Katonda ampe obusobozi okusomesa abaana bange ssaako n’ebirala. Mukama Mwesigwa kuba wakati mu ssaala, Msgr Magembe yakkiriza okuweerera omu ku baana okuva mu P.4 okutuuka mu S.6 ssaako okumuliisa.”.
‘EBIGAMBO BYE BYANZIZA KU SSOMERO’
Nze Margaret Mazzi, nsomera ku ttendekero lya Multitech Business School. Nga mmaliriza S6 mu 2019, nnafuna okusoomoozebwa era eby’okusoma ne mbivaako. Nnagendako e Bukalango neewonge ewa Katonda era gyennasisinkanira Msgr Magembe. Yansabira ne nsumulukuka n’okumbuulirira.
‘EDDOGO ERYANKUBA NE LIMBUZA EKKUBO YALYOKA’
Nze Rose Asiimwe okuva e Mbarara. Mu 2012 waaliwo ebintu ebyankwatanga ne binkuba ne mbula awaka n’okubulira mu kkubo. Bandeeta wano e Bukalango ne twetaba mu ssaala za Ssangaalo ga Msgr Magembe ansabira. Bwennatereera ne nsigala wano
No Comment